The Message

Esther 9

11-4 On the thirteenth day of the twelfth month, the month of Adar, the king’s order came into effect. This was the very day that the enemies of the Jews had planned to overpower them, but the tables were now turned: the Jews overpowered those who hated them! The Jews had gathered in the cities throughout King Xerxes’ provinces to lay hands on those who were seeking their ruin. Not one man was able to stand up against them—fear made cowards of them all. What’s more, all the government officials, satraps, governors—everyone who worked for the king—actually helped the Jews because of Mordecai; they were afraid of him. Mordecai by now was a power in the palace. As Mordecai became more and more powerful, his reputation had grown in all the provinces.

5-9 So the Jews finished off all their enemies with the sword, slaughtering them right and left, and did as they pleased to those who hated them. In the palace complex of Susa the Jews massacred five hundred men. They also killed the ten sons of Haman son of Hammedatha, the archenemy of the Jews:

ParshandathaDalphon
AspathaPoratha
AdaliaAridatha
ParmashtaArisai
AridaiVaizatha

10-12 But they took no plunder. That day, when it was all over, the number of those killed in the palace complex was given to the king. The king told Queen Esther, “In the palace complex alone here in Susa the Jews have killed five hundred men, plus Haman’s ten sons. Think of the killing that must have been done in the rest of the provinces! What else do you want? Name it and it’s yours. Your wish is my command.”

13 “If it please the king,” Queen Esther responded, “give the Jews of Susa permission to extend the terms of the order another day. And have the bodies of Haman’s ten sons hanged in public display on the gallows.”

14 The king commanded it: The order was extended; the bodies of Haman’s ten sons were publicly hanged.

15 The Jews in Susa went at it again. On the fourteenth day of Adar they killed another three hundred men in Susa. But again they took no plunder.

16-19 Meanwhile in the rest of the king’s provinces, the Jews had organized and defended themselves, freeing themselves from oppression. On the thirteenth day of the month of Adar, they killed seventy-five thousand of those who hated them but did not take any plunder. The next day, the fourteenth, they took it easy and celebrated with much food and laughter. But in Susa, since the Jews had banded together on both the thirteenth and fourteenth days, they made the fifteenth their holiday for laughing and feasting. (This accounts for why Jews living out in the country in the rural villages remember the fourteenth day of Adar for celebration, their day for parties and the exchange of gifts.)

20-22 Mordecai wrote all this down and sent copies to all the Jews in all King Xerxes’ provinces, regardless of distance, calling for an annual celebration on the fourteenth and fifteenth days of Adar as the occasion when Jews got relief from their enemies, the month in which their sorrow turned to joy, mourning somersaulted into a holiday for parties and fun and laughter, the sending and receiving of presents and of giving gifts to the poor.

23 And they did it. What started then became a tradition, continuing the practice of what Mordecai had written to them.

24-26 Haman son of Hammedatha, the Agagite, the archenemy of all Jews, had schemed to destroy all Jews. He had cast the pur (the lot) to throw them into a panic and destroy them. But when Queen Esther intervened with the king, he gave written orders that the evil scheme that Haman had worked out should boomerang back on his own head. He and his sons were hanged on the gallows. That’s why these days are called “Purim,” from the word pur or “lot.”

26-28 Therefore, because of everything written in this letter and because of all that they had been through, the Jews agreed to continue. It became a tradition for them, their children, and all future converts to remember these two days every year on the specified dates set down in the letter. These days are to be remembered and kept by every single generation, every last family, every province and city. These days of Purim must never be neglected among the Jews; the memory of them must never die out among their descendants.

29-32 Queen Esther, the daughter of Abihail, backed Mordecai the Jew, using her full queenly authority in this second Purim letter to endorse and ratify what he wrote. Calming and reassuring letters went out to all the Jews throughout the 127 provinces of Xerxes’ kingdom to fix these days of Purim their assigned place on the calendar, dates set by Mordecai the Jew—what they had agreed to for themselves and their descendants regarding their fasting and mourning. Esther’s word confirmed the tradition of Purim and was written in the book.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Eseza 9

1Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa. Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna. Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi. Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.

Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa. Mu lubiri olw’e Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano. Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa, Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa, Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa 10 abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w’Abayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago.

11 Ku lunaku olwo, Kabaka n’ategeezebwa omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri e Susani. 12 Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.”

13 Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”

14 Amangwago Kabaka n’alagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa. 15 Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.

16 Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago. 17 Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.

Entandikwa y’Embaga Eyitibwa Pulimu

18 Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.

19 Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.

20 Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala, 21 ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga, 22 era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo.

23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira. 24 Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza. 25 Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba. 26 Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako, 27 Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali. 28 Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.

29 Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n’obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu. 30 Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero, 31 n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga. 32 Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.