Zekkaliya 7 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 7:1-14

Mukama Avumirira Okusiiba okw’Obulimba

17:1 Nek 1:1Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu. 27:2 Yer 26:19; Zek 8:21Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki n’abantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama, 37:3 a Zek 12:12-14 b Yer 52:12-14; Zek 8:19n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”

4Awo ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nga kigamba nti, 57:5 Is 58:5“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze? 6Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe? 77:7 a Zek 1:4 b Yer 22:21 c Yer 17:26Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’ ”

8Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti, 97:9 Zek 8:16“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. 107:10 a Kuv 22:21 b Kuv 22:22; Is 1:17Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’

117:11 Yer 8:5; 11:10; 17:23“Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira. 127:12 a Yer 17:1; Ez 11:19 b Nek 9:29 c Dan 9:12Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.

137:13 a Nge 1:24 b Is 1:15; Yer 11:11; 14:12 c Nge 1:28“ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 147:14 a Ma 4:27; 28:64-67 b Yer 23:19 c Yer 44:6Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Закария 7:1-14

Пост лицемеров

1На четвёртом году правления царя Дария, в четвёртый день девятого месяца, месяца кислева (7 декабря 518 г. до н. э.), было слово Вечного к Закарии. 2Народ Вефиля послал Сарецера и Регем-Малика вместе с их людьми искать у Вечного расположения 3и спросить у священнослужителей дома Вечного, Повелителя Сил, и у пророков: «Скорбеть ли нам и поститься ли в пятом месяце7:3 См. сноску на 8:19., как мы делаем это уже много лет?»

4И было ко мне слово Вечного, Повелителя Сил:

5– Спроси у всего народа страны и у священнослужителей: «Когда вы постились и скорбели последние семьдесят лет в пятом и седьмом месяце7:5 См. сноску на 8:19., то для Меня ли вы постились? 6А когда вы ели и пили, то не для самих ли себя вы пировали? 7Не те ли это слова, которыми Вечный взывал через прежних пророков, когда Иерусалим с окрестными городами был населён и покоился в мире и Негев с западными предгорьями был обитаем?»

8И было к Закарии слово Вечного:

9– Так говорил Вечный, Повелитель Сил: «Судите справедливо, будьте милостивы и сострадательны друг к другу. 10Не притесняйте вдову и сироту, чужеземца и бедняка. Не замышляйте зло друг против друга». 11Но они отказались внимать; они упрямо повернулись спиной и заткнули уши, чтобы не слышать. 12Они сделали свои сердца твёрдыми, как кремень, чтобы не слушать Закона и слов, которые Вечный, Повелитель Сил, посылал Своим Духом через прежних пророков. И поэтому Вечный, Повелитель Сил, сильно разгневался. 13«Когда Я звал их, они не слушали; поэтому, когда они будут звать, Я тоже не стану слушать, – говорит Вечный, Повелитель Сил. – 14Я ураганом развеял их среди народов, которых они не знали. Страна после них осталась в таком запустении, что через неё перестали ездить. Так они привели прекрасную землю в запустение».