Zekkaliya 2 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 2:1-13

Okwolesebwa Olukoba Olupima

1Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ng’alina mu mukono gwe olukoba olupima. 22:2 Ez 40:3; Kub 21:15Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?”

Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”

3Awo malayika eyali ayogera nange n’agenda, malayika omulala n’amusisinkana. 42:4 a Ez 38:11 b Is 49:20; Yer 30:19; 33:22N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu. 52:5 a Is 26:1 b Kub 21:23Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama.

62:6 Ez 17:21“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.

72:7 Is 48:20“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.” 82:8 Ma 32:10Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye. 92:9 a Is 14:2 b Zek 4:9Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.

102:10 a Zef 3:14 b Zek 9:9 c Lv 26:12; Zek 8:3“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama. 11“Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli. 122:12 a Ma 32:9; Zab 33:12; Yer 10:16 b Zek 1:17Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi. 132:13 Kbk 2:20Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒迦利亞書 2:1-13

準繩

1我又舉目觀看,見有人拿著準繩。 2於是我問:「你要去哪裡?」他回答說:「去丈量耶路撒冷,看看有多寬多長。」 3此前與我說話的天使離去時,迎著他走來另一位天使, 4對他說:「快跑去告訴那青年,『耶路撒冷必像沒有城牆限制的村莊,因為城中將有大量的人和牲畜。 5耶和華說,我要成為一堵火牆環繞耶路撒冷,作城中的榮耀。』

6「耶和華說,『我曾把你們分散到天下四方,現在,快!快逃離北方之地。這是耶和華說的。 7住在巴比倫城的人啊,快逃到錫安吧!』」 8萬軍之耶和華說,祂在彰顯榮耀之後要差遣我去那些擄掠你們的國家,因為誰侵害你們,就是侵害祂的瞳人。 9看啊,祂要揮手攻擊他們,使他們被自己的奴隸擄掠。那時你們便知道是萬軍之耶和華差遣了我。 10耶和華說:「錫安2·10 」希伯來文是「女子」,可能是對錫安的暱稱,下同9·9啊,高聲歡唱吧!因為我要來住在你裡面。」 11到那天,許多國家都要歸向耶和華,做祂的子民。祂要住在你裡面。那時,你便知道是萬軍之耶和華差遣我到你們這裡來的。 12耶和華必擁有猶大作祂聖地的產業,祂必再次揀選耶路撒冷13世人都當在耶和華面前肅靜,因為祂要從聖所起來了。