Zabbuli 99
199:1 a Zab 97:1 b Kuv 25:22Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
299:2 a Zab 48:1 b Zab 97:9; 113:4Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
399:3 Zab 76:1Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
499:4 a Zab 11:7 b Zab 98:9Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
599:5 Zab 132:7Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
699:6 a Kuv 24:6 b Yer 15:1 c 1Sa 7:9Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
799:7 Kuv 33:9Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
899:8 Kbl 14:20Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.