Zabbuli 94
194:1 a Nak 1:2; Bar 12:19 b Zab 80:1Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
294:2 a Lub 18:25 b Zab 31:23Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
494:4 a Zab 31:18 b Zab 52:1Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
594:5 Is 3:15Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
794:7 Yob 22:14; Zab 10:11Ne boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”
894:8 Zab 92:6Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
994:9 Kuv 4:11; Nge 20:12Oyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
1094:10 Yob 35:11; Is 28:26Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
1194:11 1Ko 3:20*Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.
1294:12 a Yob 5:17; Beb 12:5 b Ma 8:3Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
1394:13 Zab 55:23omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
1494:14 1Sa 12:22; Zab 37:28; Bar 11:2Kubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
1594:15 Zab 97:2Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
1694:16 a Kbl 10:35; Zab 17:13 b Zab 59:2Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
1794:17 Zab 124:2Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
1894:18 Zab 38:16Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
2094:20 Zab 58:2Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
2194:21 a Zab 56:6 b Zab 106:38; Nge 17:15, 26Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
2294:22 Zab 18:2; 59:9Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
2394:23 Zab 7:16Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.