Zabbuli 91
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
191:1 a Zab 31:20 b Zab 17:8Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
291:2 Zab 142:5Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
391:3 a Zab 124:7; Nge 6:5 b 1Bk 8:37Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
491:4 a Zab 17:8 b Zab 35:2Alikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
591:5 Yob 5:21Tootyenga ntiisa ya kiro,
wadde akasaale akalasibwa emisana;
6newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
7Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
naye olumbe terulikutuukako.
891:8 Zab 37:34; 58:10; Mal 1:5Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.
9Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
1091:10 Nge 12:21tewali kabi kalikutuukako,
so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
1191:11 a Beb 1:14 b Zab 34:7Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
bakukuume mu makubo go gonna.
1291:12 Mat 4:6*; Luk 4:10-11*Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
1391:13 Dan 6:22; Luk 10:19Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
14“Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
1591:15 1Sa 2:30; Zab 50:15; Yk 12:26Anankowoolanga ne muyitabanga;
nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
1691:16 a Ma 6:2; Zab 21:4 b Zab 50:23Ndimuwangaaza n’asanyuka
era ndimulaga obulokozi bwange.”