Zabbuli 90 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 90:1-17

EKITABO IV

Zabbuli 90–106

Zabbuli 90

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.

190:1 Ma 33:27; Ez 11:16Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu

emirembe gyonna.

290:2 a Yob 15:7; Nge 8:25 b Zab 102:24-27Ensozi nga tezinnabaawo,

n’ensi yonna nga tonnagitonda;

okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.

390:3 Lub 3:19; Yob 34:15Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,

n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”

490:4 2Pe 3:8Kubanga emyaka olukumi,

gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,

oba ng’ekisisimuka mu kiro.

590:5 Zab 73:20; Is 40:6Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.

Ku makya baba ng’omuddo omuto.

690:6 Mat 6:30; Yak 1:10Ku makya guba munyirivu,

naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.

7Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,

n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.

890:8 Zab 19:12Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,

n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.

990:9 Zab 78:33Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;

tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.

1090:10 Yob 20:8Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,

oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.

Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,

era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.

1190:11 Zab 76:7Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?

Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.

1290:12 a Zab 39:4 b Ma 32:29Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,

tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

1390:13 a Zab 6:3 b Ma 32:36; Zab 135:14Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?

Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.

1490:14 a Zab 103:5 b Zab 85:6 c Zab 31:7Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,

tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.

15Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,

era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.

1690:16 Zab 44:1; Kbk 3:2Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,

n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.

1790:17 Is 26:12Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,

otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;

weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 90:1-17

卷四:詩篇90—106

第 90 篇

上帝與世人

上帝的僕人摩西的祈禱。

1主啊,

你是我們世世代代的居所。

2群山尚未誕生,

大地和世界還未形成,

從亙古到永遠,你是上帝。

3你叫人歸回塵土,

說:「世人啊,歸回塵土吧。」

4在你眼中,

千年如一日,又如夜裡的一更。

5你像急流一般把世人沖走,

叫他們如夢消逝。

他們像清晨的嫩草,

6清晨還生機盎然,

傍晚就凋謝枯萎。

7你的怒氣使我們滅亡,

你的憤怒使我們戰抖。

8你知道我們的罪惡,

對我們隱秘的罪瞭若指掌。

9我們活在你的烈怒之下,

一生就像一聲歎息飛逝而去。

10我們一生七十歲,

強壯的可活八十歲,

但人生最美好的時光也充滿勞苦和愁煩,

生命轉瞬即逝,

我們便如飛而去。

11誰明白你憤怒的威力?

有誰因為明白你的烈怒而對你心存敬畏呢?

12求你教導我們明白人生有限,

使我們做有智慧的人。

13耶和華啊,我還要苦候多久呢?

求你憐憫你的僕人。

14求你在清晨以慈愛來滿足我們,

使我們一生歡喜歌唱。

15你使我們先前經歷了多少苦難和不幸的歲月,

求你也賜給我們多少歡樂的歲月。

16求你讓僕人們看見你的作為,

讓我們的後代看見你的威榮。

17願主——我們的上帝恩待我們,

使我們所做的亨通,

使我們所做的亨通。