Zabbuli 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 9:1-20

Zabbuli 99 Kiyinza okuba nga Zabbuli 9 ne 10 zaali kitontome kimu, kubanga mu kukyusa okwasookera ddala ziwandiikibbwa nga Zabbuli emu

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

19:1 a Zab 86:12 b Zab 26:7Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;

nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.

29:2 a Zab 5:11 b Zab 92:1; 83:18Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.

Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

3Abalabe bange bazzeeyo emabega,

beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.

49:4 a Zab 140:12 b 1Pe 2:23Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;

era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.

59:5 Nge 10:7Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;

erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.

69:6 Zab 34:16Abalabe obamaliddewo ddala,

n’ebibuga byabwe obizikirizza,

era tewali aliddayo kubijjukira.

79:7 Zab 89:14Naye Mukama afuga emirembe gyonna;

era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.

89:8 Zab 96:13Aliramula ensi mu butuukirivu,

era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.

99:9 Zab 32:7Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;

era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.

109:10 a Zab 91:14 b Zab 37:28Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;

kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

119:11 a Zab 76:2 b Zab 107:22 c Zab 105:1Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;

mutegeeze amawanga gonna by’akoze.

129:12 Lub 9:5Ajjukira n’awoolera eggwanga

era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

139:13 Zab 38:19Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,

onzigye ku miryango gy’okufa.

149:14 a Zab 106:2 b Zab 13:5; 51:12Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu

mu miryango9:14 Ensonga enkulu zonna zaateesebwangako mu mulyango gw’ekibuga. gy’omuwala wa Sayuuni:

era njagulizenga mu bulokozi bwo.

159:15 a Zab 7:15-16 b Zab 35:8; 57:6Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;

era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.

16Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.

Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.

179:17 a Zab 49:14 b Yob 8:13; Zab 50:22Ababi balisuulibwa emagombe;

ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.

189:18 a Zab 71:5; Nge 23:18 b Zab 12:5Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,

era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;

leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.

209:20 Zab 62:9; Is 31:3Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;

amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.