Zabbuli 88 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 88:1-18

Zabbuli 88

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

188:1 a Zab 51:14 b Zab 22:2; 27:9; Luk 18:7Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,

nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.

2Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;

otege okutu kwo nga nkukoowoola.

388:3 Zab 107:18, 26Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,

era nsemberedde okufa.

488:4 Zab 28:1Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;

nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.

588:5 Zab 31:22; Is 53:8Bandese wano ng’afudde,

nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,

nga tokyaddayo kubajjukira,

era nga tewakyali kya kubakolera.

688:6 Zab 69:15; Kgb 3:55Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,

era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.

788:7 Zab 42:7Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,

ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.

888:8 a Yob 19:13; Zab 31:11 b Yer 32:2Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,

n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.

Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.

988:9 a Zab 38:10 b Zab 86:3 c Yob 11:13; Zab 143:6Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,

ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.

1088:10 Zab 6:5Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?

Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?

1188:11 Zab 30:9Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe

n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?

12Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?

Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

1388:13 a Zab 30:2 b Zab 5:3 c Zab 119:147Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;

buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.

1488:14 a Zab 43:2 b Yob 13:24; Zab 13:1Ayi Mukama, onsuulidde ki?

Onkwekedde ki amaaso go?

1588:15 Yob 6:4Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;

ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.

16Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.

Entiisa yo tendeseemu ka buntu.

1788:17 Zab 22:16; 124:4Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;

binsaanikiridde ddala.

1888:18 nny 8; Yob 19:13; Zab 38:11Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;

nsigazza nzikiza yokka.