Zabbuli 84
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
184:1 Zab 27:4; 43:3; 132:5Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
284:2 Zab 42:1-2Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
384:3 a Zab 43:4 b Zab 5:2Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
584:5 a Zab 81:1 b Yer 31:6Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
684:6 Yo 2:23Bayita mu kiwonvu Baka,
ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
784:7 a Nge 4:18 b Ma 16:16Bagenda beeyongera amaanyi,
okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
984:9 a Zab 59:11 b 1Sa 16:6; Zab 2:2; 132:17Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
1084:10 1By 23:5Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
1184:11 a Is 60:19; Kub 21:23 b Lub 15:1 c Zab 34:10Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
1284:12 Zab 2:12Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.