Zabbuli 52
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”
152:1 Zab 94:4Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
252:2 a Zab 50:19 b Zab 57:4Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
Olulimi lwo lwogi nga kkirita
era buli kiseera lwogera bya bulimba.
352:3 Yer 9:5Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
452:4 Zab 120:2, 3Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
Ggwe olulimi kalimbira!
552:5 a Is 22:19 b Nge 2:22 c Zab 27:13Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
alikusikula, akuggye mu maka go;
alikugoba mu nsi y’abalamu.
652:6 Yob 22:19; Zab 37:34; 40:3Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
752:7 Zab 49:6“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
852:8 a Yer 11:16 b Zab 13:5Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
emirembe n’emirembe.
952:9 a Zab 30:12 b Zab 54:6Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.