Zabbuli 5 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 5:1-12

Zabbuli 5

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

1Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;

olowooze ku kunyolwa kwange.

25:2 a Zab 3:4 b Zab 84:3Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,

Ayi Kabaka wange era Katonda wange:

kubanga ggwe gwe nsaba.

35:3 Zab 88:13Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;

buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,

ne nnindirira onziremu.

45:4 Zab 11:5; 92:15Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:

n’ebitasaana tobigumiikiriza.

55:5 a Zab 73:3 b Zab 1:5 c Zab 11:5Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:

kubanga okyawa abakola ebibi bonna.

65:6 Zab 55:23; Kub 21:8Abalimba bonna obazikiriza;

Mukama akyawa abatemu

era n’abalimba.

75:7 Zab 138:2Naye olw’ekisa kyo ekingi,

nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:

ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu

n’okutya okungi.

85:8 a Zab 31:1 b Zab 27:11Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,

olw’abalabe bange,

ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.

95:9 a Luk 11:44 b Bar 3:13*Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;

emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.

Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:

akamwa kaabwe koogera bya bulimba.

105:10 a Zab 9:16 b Zab 107:11Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;

baleke bagwe mu mitego gyabwe.

Bagobe

kubanga baakujeemera.

115:11 a Zab 2:12 b Zab 69:36 c Is 65:13Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;

ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,

obakuumenga,

abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

125:12 Zab 32:7Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;

era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

New Russian Translation

Псалтирь 5:1-13

Псалом 5

1Дирижеру хора. Для свирелей. Псалом Давида.

2Услышь слова мои, Господи,

пойми стенания мои!

3Внемли крику о помощи,

мой Царь и мой Бог,

ведь я молюсь Тебе.

4Утром, Господи, Ты услышишь мой голос,

утром предстану с мольбой перед Тобою

и замру в ожидании.

5Ты не Бог, желающий беззакония,

зло не сможет с Тобой обитать.

6Надменные не устоят перед Тобой,

всех делающих зло Ты ненавидишь.

7Ты погубишь говорящих ложь;

кровожадных и коварных гнушается Господь.

8Но я по великой милости Твоей

войду в дом Твой,

поклонюсь в святом храме Твоем

в страхе перед Тобой.

9Веди меня, Господи, в праведности Твоей

из-за моих врагов;

путь Твой передо мной сделай прямым.

10Ведь ни одному слову из уст их верить нельзя,

сердце их исполнено пагубы.

Гортань их – открытая могила,

языком своим они льстят.

11Осуди их, Боже!

Пусть падут из-за козней своих.

Из-за многих грехов их отвергни их,

ведь они против Тебя восстали.

12Но пусть возрадуются все,

кто в Тебе ищет прибежища;

пусть вечно поют от радости.

Окажи им Свое покровительство,

чтобы возрадовались в Тебе любящие Твое имя.

13Ведь Ты благословляешь праведника, Господи,

как щитом, окружаешь его благосклонностью.