Zabbuli 39
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
139:1 a 1Bk 2:4 b Yob 2:10; Yak 3:2Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
239:2 Zab 38:13Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
439:4 a Zab 90:12 b Zab 103:14“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
539:5 a Zab 89:45 b Zab 62:9Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
639:6 a 1Pe 1:24 b Zab 127:2 c Luk 12:20Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
739:7 Zab 38:15Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
839:8 a Zab 51:9 b Zab 44:13Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
939:9 Yob 2:10Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
1039:10 Yob 9:34; Zab 32:4Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
1139:11 a 2Pe 2:16 b Yob 13:28Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
1239:12 a 1Pe 2:11 b Beb 11:13Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
owulire okukaaba kwange onnyambe.
Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
nga bajjajjange bonna bwe baali.
1339:13 Yob 10:21; 14:10Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,
ne mbulirawo ddala.