Zabbuli 33 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 33:1-22

Zabbuli 33

Zabbuli ya Dawudi.

133:1 a Zab 147:1 b Zab 32:11Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;

kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.

233:2 Zab 92:3Mutendereze Mukama n’ennanga,

mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.

333:3 Zab 96:1Mumuyimbire oluyimba oluggya;

musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.

433:4 Zab 19:8Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;

mwesigwa mu buli ky’akola.

533:5 a Zab 11:7 b Zab 119:64Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.

Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

633:6 Beb 11:3Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;

n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.

7Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,

agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.

833:8 Zab 67:7; 96:9Ensi yonna esaana etyenga Mukama,

n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;

933:9 Lub 1:3; Zab 148:5kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,

n’alagira n’eyimirira nga nywevu.

1033:10 Is 8:10Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;

alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.

1133:11 Yob 23:13Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;

n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

1233:12 a Zab 144:15 b Kuv 19:5; Ma 7:6Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,

ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.

1333:13 Yob 28:24; Zab 11:4Mukama asinziira mu ggulu

n’alaba abaana b’abantu bonna;

1433:14 1Bk 8:39asinziira mu kifo kye mw’abeera

n’alaba abantu bonna abali ku nsi.

1533:15 a Yob 10:8 b Yer 32:19Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna

ne yeetegereza byonna bye bakola.

1633:16 Zab 44:6Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;

era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.

1733:17 Zab 20:7; Nge 21:31Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;

newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.

1833:18 a Yob 36:7; Zab 34:15 b Zab 147:11Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;

abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,

1933:19 Yob 5:20abawonya okufa,

era abawonya enjala.

2033:20 Zab 130:6Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,

kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.

2133:21 Zek 10:7; Yk 16:22Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,

kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.

22Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,

Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 33:1-22

第 33 篇

頌讚之歌

1義人啊,

你們要歡然歌頌耶和華,

正直的人理應讚美祂。

2你們要彈琴讚美耶和華,

彈奏十弦琴讚美祂。

3要為祂唱新歌,

琴聲要美妙,歌聲要嘹亮。

4因為耶和華的話是真理,

祂的作為信實可靠。

5祂喜愛公平正義,

大地充滿祂的慈愛。

6諸天靠祂的話而造,

群星靠祂口中的氣而成。

7祂將海水聚在一處,把汪洋收進倉庫。

8願普世都敬畏耶和華!

願世人都尊崇祂!

9因為祂一發話,就創造了天地;

祂一命令,就立定了萬物。

10祂挫敗列國的謀算,

攔阻列邦的計劃。

11祂的計劃永不落空,

祂的旨意萬代長存。

12尊祂為上帝的邦國有福了!

蒙揀選做祂子民的人有福了!

13祂從天上俯視人間,

14從祂的居所察看世上萬民。

15祂塑造人心,

洞察人的一切行為。

16君王不能靠兵多取勝,

勇士不能憑力大獲救。

17靠戰馬取勝實屬妄想,

馬雖力大也不能救人。

18但耶和華看顧敬畏祂、仰望祂慈愛的人。

19祂救他們脫離死亡,

保護他們度過饑荒。

20我們仰望耶和華,

祂是我們的幫助,

是我們的盾牌。

21我們信靠祂的聖名,

我們的心因祂而充滿喜樂。

22耶和華啊,我們仰望你,求你向我們施慈愛。