Zabbuli 25 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 25:1-22

Zabbuli 25

Zabbuli ya Dawudi.

125:1 Zab 86:4Eri ggwe, Ayi Mukama,

gye ndeeta okusaba kwange.

225:2 Zab 41:11Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.

325:3 Is 49:23Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,

naye ab’enkwe baliswazibwa.

425:4 Kuv 33:13Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,

ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.

5Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;

kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange

era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.

625:6 Zab 103:17; Is 63:7, 15Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,

kubanga byava dda.

725:7 a Yob 13:26; Yer 3:25 b Zab 51:1Tojjukira bibi byange

n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.

Onzijukire, Ayi Mukama,

ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

825:8 a Zab 92:15 b Zab 32:8Mukama mulungi, era wa mazima,

noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.

925:9 a Zab 23:3 b Zab 27:11Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu

n’abayigiriza ekkubo lye.

1025:10 a Zab 40:11 b Zab 103:18Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima

eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.

1125:11 Zab 31:3; 79:9Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,

onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

1225:12 Zab 37:23Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?

Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.

1325:13 a Nge 19:23 b Zab 37:11Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,

era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.

1425:14 a Nge 3:32 b Yk 7:17Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;

anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.

1525:15 Zab 141:8Ntunuulira Mukama buli kiseera,

kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

1625:16 Zab 69:16Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,

kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.

1725:17 Zab 107:6Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;

mponya okweraliikirira kwange.

1825:18 2Sa 16:12Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;

onzigyeko ebibi byange byonna.

1925:19 Zab 3:1Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi

n’okunkyawa kwe bankyawamu!

2025:20 Zab 86:2Labiriranga obulamu bwange, obamponye;

tondekanga mu buswavu,

kubanga ggwe kiddukiro kyange.

2125:21 Zab 41:12Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,

essubi lyange liri mu ggwe.

2225:22 Zab 130:8Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,

omuwonye emitawaana gye gyonna.