Zabbuli 15
Zabbuli ya Dawudi.
115:1 a Zab 27:5-6 b Zab 24:3-5Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
215:2 Zab 24:4; Zek 8:3, 16; Bef 4:25Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
315:3 Kuv 23:1Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
415:4 a Bik 28:10 b Bal 11:35Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
515:5 a Kuv 22:25 b Kuv 23:8; Ma 16:19 c 2Pe 1:10Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.
Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.