Zabbuli 135
1135:1 Zab 113:1; 134:1Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2135:2 a Luk 2:37 b Zab 116:19mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3135:3 a Zab 119:68 b Zab 147:1Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4135:4 a Ma 10:15; 1Pe 2:9 b Kuv 19:5; Ma 7:6Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5135:5 a Zab 48:1 b Zab 97:9Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6135:6 Zab 115:3Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7135:7 a Yer 10:13; Zek 10:1 b Yob 28:25 c Yob 38:22Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8135:8 Kuv 12:12; Zab 78:51Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9135:9 a Ma 6:22 b Zab 136:10-15Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10135:10 Kbl 21:21-25; Zab 136:17-21Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11135:11 a Kbl 21:21 b Yos 12:7-24Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12135:12 Zab 78:55Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13135:13 a Kuv 3:15 b Zab 102:12Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14135:14 Ma 32:36Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21135:21 Zab 134:3Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.