Zabbuli 123 – LCB & HLGN

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 123:1-4

Zabbuli 123

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1123:1 Zab 11:4; 121:1; 141:8Nnyimusa amaaso gange gy’oli,

Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.

2123:2 Zab 25:15Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;

n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe,

n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,

okutuusa lw’alitusaasira.

3Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,

kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.

4Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,

n’okunyoomebwa ab’amalala.

Ang Pulong Sang Dios

Salmo 123:1-4

Salmo 123

Pangamuyo para sa Kaluoy sang Dios

1Ginoo, nagapangamuyo123:1 nagapangamuyo: sa literal, nagatan-aw. ako sa imo,

sa imo nga nagapungko sa trono dira sa langit.

2Subong nga ang suluguon nagahulat nga hatagan siya sang iya agalon,

kami nagahulat man nga buligan mo, Ginoo nga amon Dios, hasta nga kaluoyan mo kami.

3Kaluoyi kami, Ginoo, kay sobra na ang pagtamay sa amon.

4Sobra na ang pagyaguta sa amon sang mga tawo nga nagapatawhay-tawhay lang kag mga bugalon.