Zabbuli 12
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
112:1 Is 57:1Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
212:2 Zab 10:7; 41:6; 55:21; Bar 16:18Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
312:3 Dan 7:8; Kub 13:5Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
512:5 Zab 10:18; 34:6Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
612:6 2Sa 22:31; Zab 18:30; Nge 30:5Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
712:7 Zab 37:28Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
812:8 Zab 55:10-11Ababi beeyisaayisa
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.