Zabbuli 118 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 118:1-29

Zabbuli 118

1118:1 a 1By 16:8 b Zab 106:1; 136:1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;

okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2118:2 Zab 115:9Kale Isirayiri ayogere nti,

“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

3N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,

“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

4Abo abatya Mukama boogere nti,

“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

5118:5 a Zab 120:1 b Zab 18:19Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,

n’annyanukula, n’agimponya.

6118:6 a Beb 13:6* b Zab 27:1; 56:4Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.

Abantu bayinza kunkolako ki?

7118:7 a Zab 54:4 b Zab 59:10Mukama ali nange, ye anyamba.

Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

8118:8 a Zab 40:4 b Yer 17:5Kirungi okwesiga Mukama

okusinga okwesiga omuntu.

9118:9 Zab 146:3Kirungi okuddukira eri Mukama

okusinga okwesiga abalangira.

10118:10 Zab 18:40Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,

naye mu linnya lya Mukama naziwangula.

11118:11 a Zab 88:17 b Zab 3:6Banneebungulula enjuuyi zonna;

naye mu linnya lya Mukama nabawangula.

12118:12 a Ma 1:44 b Zab 58:9Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;

naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;

mu linnya lya Mukama nabawangula.

13118:13 Zab 86:17; 140:4Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;

naye Mukama n’annyamba.

14118:14 a Kuv 15:2 b Is 12:2Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,

afuuse obulokozi bwange.

15118:15 a Zab 68:3 b Zab 89:13Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,

nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,

“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!

16Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;

omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”

17118:17 a Zab 6:5; Kbk 1:12 b Kuv 15:6; Zab 73:28Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,

ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.

18118:18 2Ko 6:9Mukama ambonerezza nnyo,

naye tandese kufa.

19118:19 Is 26:2Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,

nnyingire, neebaze Mukama.

20118:20 Zab 24:7; Is 35:8; Kub 22:14Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,

abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.

21118:21 Zab 116:1Nkwebaza kubanga onnyanukudde

n’ofuuka obulokozi bwange.

22118:22 Mat 21:42; Mak 12:10; Luk 20:17*; Bik 4:11*; 1Pe 2:7*Ejjinja abazimbi lye baagaana lye

lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

23Kino Mukama ye yakikola;

era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.

24Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;

tusanyuke tulujagulizeeko.

25Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,

Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26118:26 Mat 21:9*; Mak 11:9*; Luk 13:35*; 19:38*; Yk 12:13*Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.

Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.

27118:27 1Pe 2:9Mukama ye Katonda,

y’atwakiza omusana.

Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe

kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28118:28 a Is 25:1 b Kuv 15:2Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;

ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29Mwebaze Mukama kubanga mulungi,

n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Korean Living Bible

시편 118:1-29

여호와의 선하심과 사랑에 대한 감사

1여호와께 감사하라.

그는 선하시고

그의 사랑은 영원하다.

2이스라엘아, 말하라.

“그의 사랑은 영원하다” 고.

3아론의 제사장들아, 말하라.

“그의 사랑은 영원하다” 고.

4여호와를 두려워하는

자들아, 말하라.

“그의 사랑은 영원하다” 고.

5내가 고통 가운데서

여호와께 부르짖었더니

그가 나에게 응답하시고

나를 자유롭게 하셨다.

6여호와께서 나와 함께하시니

내가 두려워하지 않으리라.

사람에 불과한 자가

나를 어떻게 하겠는가?

7여호와께서 나와 함께하셔서

나를 도우시니

내 원수들이 패하는 것을

내가 보리라.

8여호와를 신뢰하는 것이

사람을 의지하는 것보다 낫고

9여호와를 신뢰하는 것이

118:9 또는 ‘방백들을’권세 있는 자를

의지하는 것보다 낫다.

10적국들이 사방에서

나를 둘러싸고 있으나

내가 여호와의 이름으로

그들을 물리치리라.

11그들이 겹겹으로 나를 둘러쌌으나

내가 여호와의 이름으로

그들을 물리치리라.

12그들이 벌떼처럼 몰려들어

나를 포위하나

불에 타는 가시덤불처럼

급히 소멸될 것이니

내가 여호와의 이름으로

그들을 멸하리라.

13내 원수가 나를 죽이려 하였으나

여호와는 나를 도우셨다.

14여호와는 나의 능력과 찬송이시며

내 구원이 되셨다.

15성도의 집에

구원의 즐거운 소리가 있구나.

“여호와의 오른손이

권능을 행하셨다!

16여호와의 오른손이 높이 들렸으며

여호와의 오른손이

권능을 행하셨다!”

17내가 죽지 않고 살아서

여호와께서 행하신 일을

선포하리라.

18여호와께서

나를 엄하게 벌하셨으나

나를 죽게 하지는 않으셨다.

19의의 문을 열어라.

내가 들어가서

여호와께 감사하리라.

20이것은 여호와의 문이므로

의로운 자들만 들어가리라.

21여호와여, 주께서

나에게 응답하시고

나를 구원하셨으므로

내가 주께 감사하겠습니다.

22건축자들이 버린 돌이

집 모퉁이의 머릿돌이 되었으니

23이것은 여호와께서 행하신 것이요

우리 눈에 신기한 일이다.

24여호와께서 이 날을 정하셨으니

우리가 다 기뻐하고 즐거워하리라.

25여호와여, 우리를 구원하소서!

여호와여, 우리에게

성공을 주소서!

26여호와의 이름으로 오는 자가

복이 있으니

우리가 여호와의 집에서

너희를 축복하였다.

27여호와는 하나님이시다.

그가 우리에게 빛을 주셨다.

118:27 또는 ‘줄로 희생제물을 제단 뿔에 맬지어다’너희는 손에 나뭇가지를 들고

제단까지 축제 행렬을 벌여라.

28주는 나의 하나님이시니

내가 주께 감사드립니다.

주는 나의 하나님이시니

내가 주를 찬양합니다.

29여호와께 감사하라.

그는 선하시고

그의 사랑은 영원하다.