Zabbuli 110
Zabbuli ya Dawudi.
1110:1 a Mat 22:44*; Mak 12:36*; Luk 20:42*; Bik 2:34* b 1Ko 15:25Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.”
2110:2 Zab 45:6Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3110:3 Bal 5:2; Zab 96:9Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4110:4 a Kbl 23:19 b Beb 5:6*; 7:21* c Beb 7:15-17*Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
5110:5 a Zab 16:8 b Zab 2:12 c Zab 2:5; Bar 2:5Mukama anaakulwaniriranga;
bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
6110:6 a Is 2:4 b Is 66:24 c Zab 68:21Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
7110:7 Zab 27:6Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.