Yoswa 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 2:1-24

Abakessi Baweerezebwa e Yeriko

12:1 a Yak 2:25 b Kbl 25:1; Yos 3:1 c Beb 11:31Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko2:1 Yeriko Kyali kibuga kya dda nnyo nga kiriko ebigo eby’amaanyi nga kiri kilomita munaana mu bugwanjuba bwa Yoludaani. Mwalimu emigga mingi nga kiriko ne bbugwe ow’amaanyi. Abatuuze baamu baasobolanga okwewanirira mu biseera eby’ekyeya okumala ebbanga ddene ddala. Noolwekyo kyali kifo kikulu nnyo awayingirwa mu Nsi Ensuubize..” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo. 2Naye kabaka wa Yeriko n’akitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye. 3Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”

42:4 2Sa 17:19-20Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava. 5Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.” 62:6 a Yak 2:25 b Kuv 1:17, 19; 2Sa 17:19So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa. 7Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.

8Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu n’ayambuka gye baali ku nju waggulu 92:9 Lub 35:5; Kuv 23:27; Ma 2:25n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. 102:10 a Kuv 14:21 b Kbl 23:22 c Kbl 21:21, 24, 34-35Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. 112:11 a Kuv 15:14; Yos 5:1; 7:5; Zab 22:14; Is 13:7 b Ma 4:39Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.” 122:12 nny 18N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu 13nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.” 142:14 Bal 1:24; Mat 5:7Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”

152:15 Bik 9:25Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa. 162:16 a Yak 2:25 b Beb 11:31Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.” 172:17 Lub 24:8Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe 182:18 nny 12; Yos 6:23era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna. 192:19 a Ez 33:4 b Mat 27:25Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe. 20Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.” 21Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa.

Abakessi Beddirayo Ewaabwe

22Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa, 23ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda. 242:24 nny 9; Yos 6:2Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 2:1-24

喇合营救探子

1的儿子约书亚暗中从什亭派出两个探子去侦察对岸,特别是耶利哥的情况。他们来到一个名叫喇合的妓女家中,就住在那里。 2有人告诉耶利哥王说:“今天晚上有以色列人来这里刺探。” 3耶利哥王便派人到喇合那里,对她说:“把来到你家里的人交出来,因为他们是来刺探我们的。” 4喇合已经把二人藏起来了,她答道:“不错,他们来过,可是我不知他们是从哪里来的。 5天黑要关闭城门的时候,他们就离开了,我不知道他们去了哪里。你们快去追吧,还可以追得上。” 6其实喇合已经把二人带到屋顶上,藏在那里的麻秆堆里了。 7搜查的人便沿着通往约旦河渡口的路追去,他们一出城,城门便关闭了。

8在两个探子睡觉前,喇合上到屋顶对他们说: 9“我知道耶和华已经把这地方赐给你们,我们十分害怕。这里所有的居民都吓得胆战心惊。 10因为你们离开埃及过红海的时候,耶和华怎样使红海在你们面前成为干地,你们怎样对付约旦河东的两个亚摩利西宏,怎样把他们彻底消灭,我们都听说了。 11我们听了这些事,感到心惊胆战、勇气尽失。你们的上帝耶和华是天地万物的上帝。 12我既然恩待了你们,现在请你们凭耶和华向我起誓,你们也照样恩待我家,并且给我一个可靠的凭据, 13保证让我的父母、兄弟、姐妹和他们所有的亲人免于一死。” 14二人便对她说:“如果你不泄露我们的事,我们愿意用性命担保,当耶和华把这地方赐给我们的时候,我们一定守信善待你。”

15喇合的房子就在城墙边,她就住在城墙上,于是她用绳子把二人从窗口缒下去, 16并对他们说:“你们往山上去,免得被追捕的人发现。你们要在那里躲三天,等追捕的人回城以后才可以走。” 17二人对她说:“要让我们信守誓言,你必须这样做, 18我们来攻占这座城的时候,你要把这条朱红色的绳子系在缒我们下去的窗户上,并且把你的父母、兄弟、姊妹和他们的亲人都召集到你家里。 19倘若有人因离开这房子跑到街上而遭遇不测,我们不负任何责任。我们一定保证屋内所有人的性命安全。 20如果你泄露我们的事,你要我们起的誓也就作废了。” 21喇合答道:“一言为定!”于是她送走他们,把朱红色的绳子系在窗户上。

22二人到山上躲藏了三天,等待追捕的人回去。追捕的人沿途搜索,毫无所获,便回去了。 23二人便下山,过河回到的儿子约书亚那里,向他禀告整个经过, 24又说:“耶和华确实将那整片土地交给我们了,那里的居民听到我们的消息,都吓得胆战心惊。”