Yokaana 8 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 8:1-59

Omukazi Eyakwatibwa ng’Ayenda

18:1 Mat 21:1Awo Yesu n’alaga ku lusozi olwa Zeyituuni. 28:2 nny 20; Mat 26:55Ku makya ennyo n’akomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali, n’atuula n’abayigiriza. 3Awo abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ng’ayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso g’ekibiina. 4Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda. 58:5 Lv 20:10; Ma 22:22Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?” 68:6 a Mat 22:15, 18 b Mat 12:10Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.

Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 78:7 a Ma 17:7 b Bar 2:1, 22Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.” 8N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 9Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina. 10Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”

118:11 a Yk 3:17 b Yk 5:14Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.”

Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”

Yesu gwe Musana gw’Ensi

128:12 a Yk 6:35 b Yk 1:4; 12:35 c Nge 4:18; Mat 5:14Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”

138:13 Yk 5:31Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”

148:14 a Yk 13:3; 16:28 b Yk 7:28; 9:29Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 158:15 a Yk 7:24 b Yk 3:17Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 168:16 Yk 5:30Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 178:17 Ma 17:6; Mat 18:16Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 188:18 Yk 5:37Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”

198:19 a Yk 16:3 b Yk 14:7; 1Yk 2:23Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”

208:20 a Mat 26:55 b Mak 12:41 c Mat 26:18; Yk 7:30Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. 218:21 a Ez 3:18 b Yk 7:34; 13:33Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”

22Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ” 238:23 Yk 3:31; 17:14Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. 248:24 Yk 4:26; 13:19Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

25Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”

Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza? 268:26 a Yk 7:28 b Yk 3:32; 15:15Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”

27Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako. 288:28 Yk 3:14; 5:19; 12:32Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza. 298:29 a nny 16; Yk 16:32 b Yk 4:34; 5:30; 6:38Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw’omu, kubanga bulijjo nkola by’ayagala.” 308:30 Yk 7:31Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.

Abaana ba Ibulayimu

318:31 Yk 15:7; 2Yk 9Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. 328:32 Bar 8:2; Yak 2:12Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” 338:33 nny 37, 39; Mat 3:9Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”

348:34 Bar 6:16; 2Pe 2:19Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi. 358:35 Bag 4:30Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. 36Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe. 378:37 nny 39, 40Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza. 388:38 Yk 5:19, 30; 14:10, 24Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.” 398:39 nny 37; Bar 9:7; Bag 3:7Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola. 408:40 nny 26Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola. 418:41 a nny 38, 44 b Is 63:16; 64:8Mukola emirimu gya kitammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”

428:42 a 1Yk 5:1 b Yk 16:27; 17:8 c Yk 7:28 d Yk 3:17Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma. 43Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. 448:44 a 1Yk 3:8 b nny 38, 41 c Lub 3:4Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba. 458:45 Yk 18:37Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza. 46Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza? 478:47 Yk 18:37; 1Yk 4:6Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”

488:48 a Mat 10:5 b nny 52; Yk 7:20Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”

49Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. 508:50 nny 54; Yk 5:41Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula. 518:51 Yk 11:26Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.”

52Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ 538:53 Yk 4:12Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”

548:54 a nny 50 b Yk 16:14; 17:1, 5Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe, 558:55 a nny 19 b Yk 7:28, 29 c Yk 15:10mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma. 568:56 a nny 37, 39 b Mat 13:17; Beb 11:13Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”

57Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”

588:58 a Yk 1:2; 17:5, 24 b Kuv 3:14Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.” 598:59 a Lv 24:16; Yk 10:31; 11:8 b Yk 12:36Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.

New International Version

John 8:1-59

1but Jesus went to the Mount of Olives.

2At dawn he appeared again in the temple courts, where all the people gathered around him, and he sat down to teach them. 3The teachers of the law and the Pharisees brought in a woman caught in adultery. They made her stand before the group 4and said to Jesus, “Teacher, this woman was caught in the act of adultery. 5In the Law Moses commanded us to stone such women. Now what do you say?” 6They were using this question as a trap, in order to have a basis for accusing him.

But Jesus bent down and started to write on the ground with his finger. 7When they kept on questioning him, he straightened up and said to them, “Let any one of you who is without sin be the first to throw a stone at her.” 8Again he stooped down and wrote on the ground.

9At this, those who heard began to go away one at a time, the older ones first, until only Jesus was left, with the woman still standing there. 10Jesus straightened up and asked her, “Woman, where are they? Has no one condemned you?”

11“No one, sir,” she said.

“Then neither do I condemn you,” Jesus declared. “Go now and leave your life of sin.”

Dispute Over Jesus’ Testimony

12When Jesus spoke again to the people, he said, “I am the light of the world. Whoever follows me will never walk in darkness, but will have the light of life.”

13The Pharisees challenged him, “Here you are, appearing as your own witness; your testimony is not valid.”

14Jesus answered, “Even if I testify on my own behalf, my testimony is valid, for I know where I came from and where I am going. But you have no idea where I come from or where I am going. 15You judge by human standards; I pass judgment on no one. 16But if I do judge, my decisions are true, because I am not alone. I stand with the Father, who sent me. 17In your own Law it is written that the testimony of two witnesses is true. 18I am one who testifies for myself; my other witness is the Father, who sent me.”

19Then they asked him, “Where is your father?”

“You do not know me or my Father,” Jesus replied. “If you knew me, you would know my Father also.” 20He spoke these words while teaching in the temple courts near the place where the offerings were put. Yet no one seized him, because his hour had not yet come.

Dispute Over Who Jesus Is

21Once more Jesus said to them, “I am going away, and you will look for me, and you will die in your sin. Where I go, you cannot come.”

22This made the Jews ask, “Will he kill himself? Is that why he says, ‘Where I go, you cannot come’?”

23But he continued, “You are from below; I am from above. You are of this world; I am not of this world. 24I told you that you would die in your sins; if you do not believe that I am he, you will indeed die in your sins.”

25“Who are you?” they asked.

“Just what I have been telling you from the beginning,” Jesus replied. 26“I have much to say in judgment of you. But he who sent me is trustworthy, and what I have heard from him I tell the world.”

27They did not understand that he was telling them about his Father. 28So Jesus said, “When you have lifted up8:28 The Greek for lifted up also means exalted. the Son of Man, then you will know that I am he and that I do nothing on my own but speak just what the Father has taught me. 29The one who sent me is with me; he has not left me alone, for I always do what pleases him.” 30Even as he spoke, many believed in him.

Dispute Over Whose Children Jesus’ Opponents Are

31To the Jews who had believed him, Jesus said, “If you hold to my teaching, you are really my disciples. 32Then you will know the truth, and the truth will set you free.”

33They answered him, “We are Abraham’s descendants and have never been slaves of anyone. How can you say that we shall be set free?”

34Jesus replied, “Very truly I tell you, everyone who sins is a slave to sin. 35Now a slave has no permanent place in the family, but a son belongs to it forever. 36So if the Son sets you free, you will be free indeed. 37I know that you are Abraham’s descendants. Yet you are looking for a way to kill me, because you have no room for my word. 38I am telling you what I have seen in the Father’s presence, and you are doing what you have heard from your father.8:38 Or presence. Therefore do what you have heard from the Father.

39“Abraham is our father,” they answered.

“If you were Abraham’s children,” said Jesus, “then you would8:39 Some early manuscripts “If you are Abraham’s children,” said Jesus, “then do what Abraham did. 40As it is, you are looking for a way to kill me, a man who has told you the truth that I heard from God. Abraham did not do such things. 41You are doing the works of your own father.”

“We are not illegitimate children,” they protested. “The only Father we have is God himself.”

42Jesus said to them, “If God were your Father, you would love me, for I have come here from God. I have not come on my own; God sent me. 43Why is my language not clear to you? Because you are unable to hear what I say. 44You belong to your father, the devil, and you want to carry out your father’s desires. He was a murderer from the beginning, not holding to the truth, for there is no truth in him. When he lies, he speaks his native language, for he is a liar and the father of lies. 45Yet because I tell the truth, you do not believe me! 46Can any of you prove me guilty of sin? If I am telling the truth, why don’t you believe me? 47Whoever belongs to God hears what God says. The reason you do not hear is that you do not belong to God.”

Jesus’ Claims About Himself

48The Jews answered him, “Aren’t we right in saying that you are a Samaritan and demon-possessed?”

49“I am not possessed by a demon,” said Jesus, “but I honor my Father and you dishonor me. 50I am not seeking glory for myself; but there is one who seeks it, and he is the judge. 51Very truly I tell you, whoever obeys my word will never see death.”

52At this they exclaimed, “Now we know that you are demon-possessed! Abraham died and so did the prophets, yet you say that whoever obeys your word will never taste death. 53Are you greater than our father Abraham? He died, and so did the prophets. Who do you think you are?”

54Jesus replied, “If I glorify myself, my glory means nothing. My Father, whom you claim as your God, is the one who glorifies me. 55Though you do not know him, I know him. If I said I did not, I would be a liar like you, but I do know him and obey his word. 56Your father Abraham rejoiced at the thought of seeing my day; he saw it and was glad.”

57“You are not yet fifty years old,” they said to him, “and you have seen Abraham!”

58“Very truly I tell you,” Jesus answered, “before Abraham was born, I am!” 59At this, they picked up stones to stone him, but Jesus hid himself, slipping away from the temple grounds.