Yokaana 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 15:1-27

Yesu gwe Muzabbibu gwennyini

115:1 Is 5:1-7“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 315:3 Yk 13:10; 17:17; Bef 5:26Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 415:4 Yk 6:56; 1Yk 2:6mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.

515:5 nny 16“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 615:6 nny 2Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 715:7 Mat 7:7Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 815:8 a Mat 5:16 b Yk 8:31Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

915:9 Yk 17:23, 24, 26“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 1015:10 Yk 14:15Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 1115:11 Yk 17:13Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 1215:12 Yk 13:34Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 1315:13 Yk 10:11; Bar 5:7, 8Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 1415:14 a Luk 12:4 b Mat 12:50Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 1515:15 Yk 8:26Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 1615:16 Yk 6:70; 13:18Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 1715:17 nny 12Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.

1815:18 1Yk 3:13“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 1915:19 a nny 16 b Yk 17:14Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 2015:20 a Yk 13:16 b 2Ti 3:12Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 2115:21 a Mat 10:22 b Yk 16:3Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 2215:22 Yk 9:41; Bar 1:20Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 2415:24 Yk 5:36Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 2515:25 Zab 35:19; 69:4Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’

2615:26 a Yk 14:16 b Yk 14:26 c Yk 14:17 d 1Yk 5:7“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 2715:27 a Luk 24:48; 1Yk 1:2 b Luk 1:2Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”