15:1 Yob 15:15“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?
Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
25:2 Nge 12:16Obukyayi butta atalina magezi,
n’obuggya butta omusirusiru.
35:3 a Zab 37:35; Yer 12:2 b Yob 24:18Ndabye abasirusiru nga banywevu,
naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
45:4 a Yob 4:11 b Am 5:12Abaana baabwe tebalina bukuumi,
babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
55:5 Yob 18:8-10Omuyala alya amakungula gaabwe
era atwala n’ag’omu maggwa
era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
6Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,
wadde obuzibu okuva mu ttaka,
75:7 Yob 14:1wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
85:8 Zab 35:23; 50:15Naye nze, nzija kunoonya Katonda
era mmulekere ensonga zange.
95:9 Yob 42:3; Zab 40:5Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
ebyewuunyisa ebitabalika.
105:10 Yob 36:28Atonnyesa enkuba ku nsi,
n’aweereza amazzi mu byalo.
115:11 Zab 113:7-8Ayimusa abo abanyigirizibwa
n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
125:12 Nek 4:15; Zab 33:10Aziyiza enkwe z’ababi,
emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
135:13 1Ko 3:19*Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
145:14 a Yob 12:25 b Ma 28:29Ekizikiza kibabuutikira emisana,
ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
155:15 a Zab 35:10 b Yob 4:10Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
n’abawonya ekitala kyabwe.
165:16 Zab 107:42Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,
n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.
175:17 a Yak 1:12 b Zab 94:12; Nge 3:11 c Beb 12:5-11“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
185:18 a Is 30:26 b 1Sa 2:6Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
y’alumya era y’awonya.
195:19 Zab 34:19; 91:10Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
205:20 a Zab 33:19 b Zab 144:10Mu njala alikuwonya okufa,
era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
215:21 a Zab 31:20 b Zab 91:5Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
225:22 Zab 91:13; Ez 34:25Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
235:23 a Zab 91:12 b Is 11:6-9Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
245:24 Yob 8:6Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
255:25 a Zab 112:2 b Zab 72:16; Is 44:3-4Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
265:26 Lub 15:15Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.
27“Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
Kimanye nga kikwata ku ggwe.”