Yobu 35 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 35:1-16

1Eriku n’ayongera okwogera nti,

2“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.

Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.

335:3 Yob 9:29-31; 34:9Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’

Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

4“Nandyagadde okukuddamu

ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.

535:5 a Lub 15:5 b Yob 22:12Tunula eri eggulu olabe;

tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.

635:6 Nge 8:36Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?

Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?

735:7 a Bar 11:35 b Nge 9:12 c Yob 22:2-3; Luk 17:10Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,

oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?

8Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,

era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.

935:9 a Kuv 2:23 b Yob 12:19Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,

balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.

1035:10 a Yob 27:10; Is 51:13 b Zab 42:8; 149:5; Bik 16:25Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange

atuwa ennyimba ekiro,

1135:11 Zab 94:12atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,

era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?

1235:12 Nge 1:28Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira

n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.

1335:13 Yob 27:9; Nge 15:29; Is 1:15; Yer 11:11Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;

Ayinzabyonna takufaako.

1435:14 a Yob 9:11 b Zab 37:6Kale kiba kitya

bw’ogamba nti tomulaba,

era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge

era oteekwa okumulindirira;

15oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza

era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.

1635:16 Yob 34:35, 37Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;

obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”