Yobu 26 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 26:1-14

Yobu Ayanukula

1Awo Yobu n’addamu nti,

226:2 a Yob 6:12 b Zab 71:9“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!

Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!

3Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!

Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!

4Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?

Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

526:5 Zab 88:10“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,

n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.

626:6 a Zab 139:8 b Yob 41:11; Nge 15:11; Beb 4:13Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;

n’okuzikiriza tekulina kikubisse.

726:7 Yob 9:8Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,

awanika ensi awatali kigiwanirira.

826:8 a Nge 30:4 b Yob 37:11Asiba amazzi mu bire bye;

ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.

926:9 Yob 22:14; Zab 97:2Abikka obwenyi bw’omwezi,

agwanjululizaako ebire bye.

1026:10 a Nge 8:27, 29 b Yob 38:8-11Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,

ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.

11Empagi z’eggulu zikankana,

zeewuunya olw’okunenya kwe.

1226:12 a Kuv 14:21; Is 51:15; Yer 31:35 b Yob 12:13Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,

n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.

1326:13 Is 27:1Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,

omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.

1426:14 Yob 36:29Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.

Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!

Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”