Yobu 22 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 22:1-30

Erifaazi Addamu

1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,

222:2 Luk 17:10“Omuntu ayinza okugasa Katonda?

Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?

3Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?

Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?

422:4 Yob 14:3; 19:29; Zab 143:2“Akukangavvula lwa kumutya

era kyava akuvunaana?

522:5 Yob 11:6; 15:5Okwonoona kwo si kunene nnyo?

Ebibi byo si bingi nnyo?

622:6 Kuv 22:26; Ma 24:6, 17; Ez 18:12, 16Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;

waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.

722:7 Yob 31:17, 21, 31Tewawa bakoowu mazzi,

abaagala wabamma emmere,

822:8 Is 3:3; 9:15wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,

omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.

922:9 Yob 24:3, 21Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;

abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.

10Emitego kyegivudde gikwetooloola.

Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?

1122:11 a Yob 5:14 b Zab 69:1-2; 124:4-5; Kgb 3:54Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,

era lwaki amataba gakubikkako?

1222:12 Yob 11:8“Katonda tali waggulu mu ggulu?

Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!

1322:13 a Zab 10:11; Is 29:15 b Ez 8:12Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?

Ayinza okulamulira mu kizikiza?

1422:14 Yob 26:9Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba

bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’

15Onoosigala mu kkubo ery’edda

abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?

1622:16 a Yob 15:32 b Yob 14:19; Mat 7:26-27Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,

emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.

1722:17 Yob 21:15Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!

Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’

1822:18 a Yob 12:6 b Yob 21:16Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,

noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.

1922:19 a Zab 58:10; 107:42 b Zab 52:6Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;

abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,

2022:20 Yob 15:30‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,

era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’ 

2122:21 Zab 34:8-10“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;

mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.

22Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke

era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.

2322:23 a Yob 8:5; Is 31:6; Zek 1:3 b Is 19:22; Bik 20:32 c Yob 11:14Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,

bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,

2422:24 Yob 31:25n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,

zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,

2522:25 Is 33:6awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,

era ffeeza esingayo obulungi.

2622:26 Yob 27:10; Is 58:14Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna

era oyimuse amaaso go eri Katonda.

2722:27 Yob 33:26; 34:28; Is 58:9Olimusaba, alikuwulira,

era olituukiriza obweyamo bwo.

28Ky’olisalawo kirikolebwa,

era ekitangaala kirimulisa amakubo go.

2922:29 Mat 23:12; 1Pe 5:5Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’

Olwo alirokola abagudde.

3022:30 Yob 42:7-8Alinunula n’oyo aliko omusango,

alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”