Yobu 2 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Yobu 2:1-13

Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako

12:1 Yob 1:6Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu. 2Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”

32:3 a Yob 1:1, 8 b Yob 27:6 c Yob 9:17Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”

4Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe; 52:5 a Yob 19:20 b Yob 1:11naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.”

62:6 Yob 1:12Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”

72:7 Ma 28:35; Yob 7:5Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. 82:8 Yob 42:6; Yer 6:26; Ez 27:30; Mat 11:21Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.

9Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”

102:10 a Yob 1:21 b Yob 1:22; Zab 39:1; Yak 1:12; 5:11Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?”

Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Mikwano gya Yobu Abasatu

112:11 a Lub 36:11; Yer 49:7 b Lub 25:2 c Yob 42:11; Bar 12:15Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi2:11 Erifaazi yali Mumowaabu eyabeeranga mu Temani. Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. 122:12 Yos 7:6; Nek 9:1; Kgb 2:10; Ez 27:30Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. 132:13 Lub 50:10; Ez 3:15Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.

New International Version

Job 2:1-13

1On another day the angels2:1 Hebrew the sons of God came to present themselves before the Lord, and Satan also came with them to present himself before him. 2And the Lord said to Satan, “Where have you come from?”

Satan answered the Lord, “From roaming throughout the earth, going back and forth on it.”

3Then the Lord said to Satan, “Have you considered my servant Job? There is no one on earth like him; he is blameless and upright, a man who fears God and shuns evil. And he still maintains his integrity, though you incited me against him to ruin him without any reason.”

4“Skin for skin!” Satan replied. “A man will give all he has for his own life. 5But now stretch out your hand and strike his flesh and bones, and he will surely curse you to your face.”

6The Lord said to Satan, “Very well, then, he is in your hands; but you must spare his life.”

7So Satan went out from the presence of the Lord and afflicted Job with painful sores from the soles of his feet to the crown of his head. 8Then Job took a piece of broken pottery and scraped himself with it as he sat among the ashes.

9His wife said to him, “Are you still maintaining your integrity? Curse God and die!”

10He replied, “You are talking like a foolish2:10 The Hebrew word rendered foolish denotes moral deficiency. woman. Shall we accept good from God, and not trouble?”

In all this, Job did not sin in what he said.

11When Job’s three friends, Eliphaz the Temanite, Bildad the Shuhite and Zophar the Naamathite, heard about all the troubles that had come upon him, they set out from their homes and met together by agreement to go and sympathize with him and comfort him. 12When they saw him from a distance, they could hardly recognize him; they began to weep aloud, and they tore their robes and sprinkled dust on their heads. 13Then they sat on the ground with him for seven days and seven nights. No one said a word to him, because they saw how great his suffering was.