Yobu 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 10:1-22

110:1 a 1Bk 19:4 b Yob 7:11“Obulamu bwange mbukyayidde ddala,

noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,

njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.

210:2 Yob 9:29Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,

ntegeeza ky’onvunaana.

310:3 a Yob 9:22 b Yob 14:15; Zab 138:8; Is 64:8 c Yob 21:16; 22:18Kikusanyusa okunnyigiriza,

okunyooma omulimu gw’emikono gyo,

n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?

410:4 1Sa 16:7Amaaso go ga mubiri?

Olaba ng’omuntu bw’alaba?

510:5 Zab 90:2, 4; 2Pe 3:8Ennaku zo zisinga ez’omuntu,

n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,

610:6 Yob 14:16olyoke onoonye ebisobyo byange

era obuulirize ekibi kye nkoze,

7newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango

era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?

810:8 Zab 119:73“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.

Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?

910:9 a Is 64:8 b Lub 2:7Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,

ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?

10Tewanzitulula ng’amata

n’onkwasa ng’omuzigo?”

1110:11 Zab 139:13, 15Tewannyambaza omubiri n’olususu,

n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?

1210:12 Yob 33:4Kale wampa okuganja mu maaso go,

era walabirira, n’omwoyo gwange.

1310:13 Yob 23:13Naye bino wabikweka mu mutima gwo,

era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.

1410:14 Yob 7:21Singa nyonoona, ondaba

era tewandindese n’otombonereza.

1510:15 a Yob 9:13; Is 3:11 b Yob 9:15Bwe mba nga nsingibbwa omusango,

zinsanze nze!

Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,

kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.

1610:16 a Is 38:13; Kgb 3:10 b Yob 5:9Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,

era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.

1710:17 a Yob 16:8 b Lus 1:21Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,

era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;

amayengo ne gajja okunnumba olutata.

1810:18 Yob 3:11“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?

Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.

19Singa satondebwa,

oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.

2010:20 a Yob 14:1 b Yob 7:19 c Yob 7:16Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko?

Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,

2110:21 a 2Sa 12:23; Yob 3:13; 16:22 b Zab 23:4; 88:12nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,

ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,

22y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba

era n’okutabukatabuka,

ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”