Yeremiya 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 8:1-22

1“Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago. 28:2 2Bk 23:5; Bik 7:42Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka. 38:3 Yob 3:22; Kub 9:6N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Ekibi n’Okubonerezebwa

48:4 Nge 24:16“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omuntu bw’agwa, tayimuka?

Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?

58:5 a Yer 5:27 b Yer 7:24; 9:6Kale lwaki abantu bange bano

banvaako ne bagendera ddala?

68:6 a Kub 9:20 b Zab 14:1-3Nawuliriza n’obwegendereza

naye tebayogera mazima;

tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,

‘Kiki kino kye nkoze?’

Buli muntu akwata kkubo lye

ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.

78:7 Is 1:3; Yer 5:4-5Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga

bimanyi ebiseera mwe bitambulira;

ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya

bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,

naye abantu bange

tebamanyi biragiro bya Mukama.”

88:8 Bar 2:17Muyinza mutya okwogera nti,

“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,

ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba

yeebikyusizza.

98:9 a Yer 6:15 b Yer 6:19Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa

era balitwalibwa.

Bagaanyi ekigambo kya Mukama,

magezi ki ge balina?

108:10 a Yer 6:12 b Is 56:11Noolwekyo bakazi baabwe

ndibagabira abasajja abalala

n’ennimiro zaabwe

zitwalibwe abantu abalala.

Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,

nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.

118:11 Yer 6:14Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,

babikomya kungulu nga boogera nti,

Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.

128:12 a Yer 3:3 b Zab 52:5-7; Is 3:9 c Yer 6:15Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?

Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,

so tebamanyi wadde okulimbalimba.

Noolwekyo baligwira mu bagudde,

balikka lwe balibonerezebwa,”

bw’ayogera Mukama.

138:13 a Yo 1:7 b Luk 13:6 c Mat 21:19 d Yer 5:17“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”

bw’ayogera Mukama.

Tewaliba zabbibu,

na mutiini,

n’ebikoola byabwe biriwotoka.

Bye mbawadde

biribaggyibwako.

148:14 a Yer 4:5; 35:11 b Ma 29:18; Yer 9:15; 23:15 c Yer 14:7, 20Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?

Mukuŋŋaane.

Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe

tuzikiririre eyo.

Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire

era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,

kubanga twonoonye mu maaso ge.

158:15 a nny 11 b Yer 14:19Twasuubira mirembe

naye tewali bulungi bwajja;

twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa

naye waaliwo ntiisa.

168:16 Yer 4:15Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;

ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.

Bajja okuzikiriza

ensi ne byonna ebigirimu,

ekibuga ne bonna abakibeeramu.

178:17 a Kbl 21:6; Ma 32:24 b Zab 58:5“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,

amasalambwa g’otasobola kufuga,

emisota egyo girikuluma,”

bwayogera Mukama.

188:18 Kgb 5:17Nnina ennaku etewonyezeka,

omutima gwange gwennyise.

198:19 a Yer 9:16 b Ma 32:21Wuliriza okukaaba kw’abantu bange

okuva mu nsi ey’ewala.

Mukama taliimu mu Sayuuni?

Kabaka we takyalimu?”

“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,

bakatonda abalala abatagasa?”

20“Amakungula gayise,

n’ekyeya kiyise,

tetulokolebbwa.”

218:21 Yer 14:17Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.

Nkaaba ne nzijula ennaku.

228:22 a Lub 37:25 b Yer 30:12Teri ddagala mu Gireyaadi?

Teriiyo musawo?

Lwaki ekiwundu ky’abantu bange

tekiwonyezebwa?