Yeremiya 43 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 43:1-13

143:1 Yer 26:8; 42:9-22Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba, 243:2 Yer 42:1Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’ 343:3 Yer 38:4Naye Baluki mutabani wa Neriya y’akusendasenda otugabule mu mukono gw’Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”

443:4 a Yer 42:5-6 b Yer 42:10Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda. 543:5 Yer 40:12Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda. 6Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya. 743:7 Yer 2:16; 44:1Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.

843:8 Yer 2:16Bwe baba bali e Tapaneese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 9“Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba. 1043:10 Is 44:28; Yer 25:9; 27:6Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka. 1143:11 a Yer 46:13-26; Ez 29:19-20 b Yer 15:2; 44:13; Zek 11:9Alijja n’alumba Misiri, atte abo ab’okufa, awambe n’abo ab’okuwambibwa, n’ab’okuttibwa n’ekitala battibwe n’ekitala. 1243:12 a Yer 46:25; Ez 30:13 b Zab 104:2; 109:18-19Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko. 13Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo ly’enjuba mu Misiri, n’ayokya n’amasabo ga bakatonda b’e Misiri.’ ”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 43:1-13

耶利米被帶到埃及

1耶利米向眾人宣告了他們的上帝耶和華的話,就是他們的上帝耶和華派他去說的一切話。 2何沙雅的兒子亞撒利雅加利亞的兒子約哈難和一些狂妄之徒對耶利米說:「你在撒謊!我們的上帝耶和華並沒有派你來告訴我們不可去埃及住。 3尼利亞的兒子巴錄慫恿你反對我們,好叫我們落在迦勒底人手中,任由他們宰殺或擄到巴比倫。」 4於是,加利亞的兒子約哈難和眾將領及民眾都不聽從耶和華讓他們留在猶大的命令。 5-7加利亞的兒子約哈難和眾將領率領民眾下到埃及答比匿。民眾中有流亡到各國又返回猶大的餘民和護衛長尼布撒拉旦留給沙番的孫子、亞希甘的兒子基大利管理的男女婦孺、公主以及耶利米先知和尼利亞的兒子巴錄。他們沒有聽從耶和華的命令。

8耶和華在答比匿耶利米說: 9「你當著猶大人的面搬幾塊大石頭,埋在答比匿的法老宮門前的磚路下面, 10然後告訴他們以色列的上帝——萬軍之耶和華說,『看啊,我必召來我的僕人巴比倫尼布甲尼撒,把他的寶座安置在我讓你埋的石頭上面,他要在上面搭起他的帳篷。 11他要前來攻打埃及,叫那些該死的死、該被擄的被擄、該被殺的被殺。 12他要焚燒埃及的神廟,擄走神像;他要像牧人披上外衣一樣輕而易舉地征服埃及,然後安然離去。 13他要摧毀埃及太陽神廟的神柱,燒毀埃及的神廟。』」