Yeremiya 29 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 29:1-32

Ebbaluwa eri Abawaŋŋanguse

129:1 2By 36:10Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi. 229:2 2Bk 24:12; Yer 22:24-28Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi. 3Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bw’eti nti,

429:4 Yer 24:5Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti, 529:5 nny 28“Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu. 6Muwase muzaale abaana aboobulenzi n’aboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi n’abawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera. 729:7 Ezr 6:10; 1Ti 2:1-2Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.” 829:8 a Yer 37:9 b Yer 23:27Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. 929:9 Yer 14:14; 27:15Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera Mukama.

1029:10 a 2By 36:21; Yer 25:12; Dan 9:2 b Yer 27:22Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino. 1129:11 Zab 40:5Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama. 1229:12 Zab 145:19“Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama. 1329:13 a Mat 7:7 b Ma 4:29; Yer 24:7“Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna. 1429:14 a Ma 30:3; Yer 30:3 b Yer 23:3-4Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera Mukama.

15Muyinza okugamba nti, “Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.” 16Naye kino Mukama ky’agamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi n’abantu bonna abaasigala mu kibuga kino, n’abantu ab’ensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse. 1729:17 a Yer 27:8 b Yer 24:8-10Bw’ati bwayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Ndisindika ekitala, n’enjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ng’emitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olw’obubi bwagyo. 1829:18 a Yer 15:4 b Ma 28:25; Yer 42:18Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera. 1929:19 a Yer 6:19 b Yer 25:4Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera Mukama, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bw’ayogera Mukama.

2029:20 Yer 24:5Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni. 2129:21 nny 9; Yer 14:14Kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba. 2229:22 Dan 3:6Olw’abasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘Mukama akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka w’e Babulooni be yayokya mu muliro.’ 2329:23 a Yer 23:14 b Beb 4:13Kubanga bakoze eby’ekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera eby’obulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bw’ayogera Mukama.

Obubaka eri Semaaya

24Semaaya Omunekeramu mugambe nti, 2529:25 2Bk 25:18; Yer 21:1“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti, 2629:26 a 2Bk 9:11; Kos 9:7; Yk 10:20 b Yer 20:2Mukama yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya Mukama; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba. 27Noolwekyo lwaki tokangavudde Yeremiya ow’e Yanasosi, eyefuula nnabbi wakati mu mmwe? 2829:28 a nny 1 b nny 10 c nny 5Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ng’agamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’ ”

29Wabula Zeffaniya kabona nasomera nnabbi Yeremiya ebbaluwa eno. 30Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 3129:31 a nny 24 b Yer 14:14; 28:15“Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba, 3229:32 a 1Sa 2:30-33 b nny 10 c Yer 28:16kino Mukama ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera Mukama.’ ”

King James Version

Jeremiah 29:1-32

1Now these are the words of the letter that Jeremiah the prophet sent from Jerusalem unto the residue of the elders which were carried away captives, and to the priests, and to the prophets, and to all the people whom Nebuchadnezzar had carried away captive from Jerusalem to Babylon; 2(After that Jeconiah the king, and the queen, and the eunuchs, the princes of Judah and Jerusalem, and the carpenters, and the smiths, were departed from Jerusalem;)29.2 eunuchs: or, chamberlains 3By the hand of Elasah the son of Shaphan, and Gemariah the son of Hilkiah, (whom Zedekiah king of Judah sent unto Babylon to Nebuchadnezzar king of Babylon) saying, 4Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, unto all that are carried away captives, whom I have caused to be carried away from Jerusalem unto Babylon; 5Build ye houses, and dwell in them; and plant gardens, and eat the fruit of them; 6Take ye wives, and beget sons and daughters; and take wives for your sons, and give your daughters to husbands, that they may bear sons and daughters; that ye may be increased there, and not diminished. 7And seek the peace of the city whither I have caused you to be carried away captives, and pray unto the LORD for it: for in the peace thereof shall ye have peace.

8¶ For thus saith the LORD of hosts, the God of Israel; Let not your prophets and your diviners, that be in the midst of you, deceive you, neither hearken to your dreams which ye cause to be dreamed. 9For they prophesy falsely unto you in my name: I have not sent them, saith the LORD.29.9 falsely: Heb. in a lie

10¶ For thus saith the LORD, That after seventy years be accomplished at Babylon I will visit you, and perform my good word toward you, in causing you to return to this place. 11For I know the thoughts that I think toward you, saith the LORD, thoughts of peace, and not of evil, to give you an expected end.29.11 expected…: Heb. end and expectation 12Then shall ye call upon me, and ye shall go and pray unto me, and I will hearken unto you. 13And ye shall seek me, and find me, when ye shall search for me with all your heart. 14And I will be found of you, saith the LORD: and I will turn away your captivity, and I will gather you from all the nations, and from all the places whither I have driven you, saith the LORD; and I will bring you again into the place whence I caused you to be carried away captive.

15¶ Because ye have said, The LORD hath raised us up prophets in Babylon; 16Know that thus saith the LORD of the king that sitteth upon the throne of David, and of all the people that dwelleth in this city, and of your brethren that are not gone forth with you into captivity; 17Thus saith the LORD of hosts; Behold, I will send upon them the sword, the famine, and the pestilence, and will make them like vile figs, that cannot be eaten, they are so evil. 18And I will persecute them with the sword, with the famine, and with the pestilence, and will deliver them to be removed to all the kingdoms of the earth, to be a curse, and an astonishment, and an hissing, and a reproach, among all the nations whither I have driven them:29.18 to be a curse: Heb. for a curse 19Because they have not hearkened to my words, saith the LORD, which I sent unto them by my servants the prophets, rising up early and sending them; but ye would not hear, saith the LORD.

20¶ Hear ye therefore the word of the LORD, all ye of the captivity, whom I have sent from Jerusalem to Babylon: 21Thus saith the LORD of hosts, the God of Israel, of Ahab the son of Kolaiah, and of Zedekiah the son of Maaseiah, which prophesy a lie unto you in my name; Behold, I will deliver them into the hand of Nebuchadrezzar king of Babylon; and he shall slay them before your eyes; 22And of them shall be taken up a curse by all the captivity of Judah which are in Babylon, saying, The LORD make thee like Zedekiah and like Ahab, whom the king of Babylon roasted in the fire; 23Because they have committed villany in Israel, and have committed adultery with their neighbours’ wives, and have spoken lying words in my name, which I have not commanded them; even I know, and am a witness, saith the LORD.

24Thus shalt thou also speak to Shemaiah the Nehelamite, saying,29.24 Nehelamite: or, dreamer 25Thus speaketh the LORD of hosts, the God of Israel, saying, Because thou hast sent letters in thy name unto all the people that are at Jerusalem, and to Zephaniah the son of Maaseiah the priest, and to all the priests, saying, 26The LORD hath made thee priest in the stead of Jehoiada the priest, that ye should be officers in the house of the LORD, for every man that is mad, and maketh himself a prophet, that thou shouldest put him in prison, and in the stocks. 27Now therefore why hast thou not reproved Jeremiah of Anathoth, which maketh himself a prophet to you? 28For therefore he sent unto us in Babylon, saying, This captivity is long: build ye houses, and dwell in them; and plant gardens, and eat the fruit of them. 29And Zephaniah the priest read this letter in the ears of Jeremiah the prophet.

30¶ Then came the word of the LORD unto Jeremiah, saying, 31Send to all them of the captivity, saying, Thus saith the LORD concerning Shemaiah the Nehelamite; Because that Shemaiah hath prophesied unto you, and I sent him not, and he caused you to trust in a lie: 32Therefore thus saith the LORD; Behold, I will punish Shemaiah the Nehelamite, and his seed: he shall not have a man to dwell among this people; neither shall he behold the good that I will do for my people, saith the LORD; because he hath taught rebellion against the LORD.29.32 rebellion: Heb. revolt