Yeremiya 2 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 2:1-37

Isirayiri eva ku Katonda

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, 22:2 a Ez 16:8-14, 60; Kos 2:15 b Ma 2:7“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,

engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,

wangoberera mu ddungu

mu nsi etali nnime.

32:3 a Ma 7:6 b Kuv 19:6 c Yak 1:18; Kub 14:4 d Is 41:11; Yer 30:16 e Yer 50:7Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,

ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;

bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,

akabi nga kabatuukako,’ ”

bw’ayogera Mukama Katonda.

4Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,

era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.

52:5 2Bk 17:15Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako

ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?

Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu

nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.

62:6 a Kos 13:4 b Ma 8:15 c Ma 32:10Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;

eyatuyisa mu lukoola,

mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,

mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”

72:7 a Kbl 13:27; Ma 8:7-9; 11:10-12 b Zab 106:34-39; Yer 16:18Ne mbaleeta mu nsi engimu,

mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.

Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,

ne mufuula omugabo gwange ekivume.

82:8 a Yer 4:22 b Yer 23:13 c Yer 16:19Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”

Abo abakola ku mateeka tebammanya.

Abakulembeze ne banjeemera.

Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.

92:9 Ez 20:35-36; Mi 6:2“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”

bw’ayogera Mukama,

“Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.

10Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;

era mutume e Kedali, mwetegereze.

Mujja kulaba nga tekibangawo.

112:11 a Is 37:19; Yer 16:20 b Zab 106:20; Bar 1:23Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,

wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?

Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe

n’ebitagasa.

12Wewuunye ggwe eggulu,

era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”

bw’ayogera Mukama.

132:13 Zab 36:9; Yk 4:14“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,

banvuddeko

nze ensulo ey’amazzi amalamu

ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,

ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”

Ebyava mu kubula kwa Isirayiri

142:14 Kuv 4:22“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?

Kale lwaki afuuse omuyiggo?

152:15 a Yer 4:7; 50:17 b Is 1:7Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,

abalabe bawulugumye nnyo.

Ensi ye efuuse matongo,

ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.

162:16 a Is 19:13 b Yer 43:7-9Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi

bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.

172:17 Yer 4:18Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,

eyakukulemberanga

akulage ekkubo?

182:18 a Is 30:2 b Yos 13:3Kaakano olowooza onooganyulwamu ki

okugenda okukolagana ne Misiri?

Olowooza kiki ky’onoganyulwa

bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?

192:19 a Yer 3:11, 22; Is 3:9; Kos 5:5 b Yob 20:14; Am 8:10 c Zab 36:1Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,

n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.

Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,

n’oba nga tokyantya,”

bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

202:20 a Lv 26:13 b Is 57:7; Yer 17:2 c Ma 12:2Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,

n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’

Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde

wakuba obwamalaaya

ng’ovuunamira bakatonda abalala.

212:21 a Kuv 15:17 b Zab 80:8 c Is 5:4Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,

ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,

naye ate lwaki oyonoonese

n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?

22Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,

naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo

bisigala bikyalabika,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

232:23 a Nge 30:12 b Yer 9:14 c Yer 7:31 d nny 33; Yer 31:22Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,

sigobereranga ba Baali?”

Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;

tegeera kye wakola.

Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro

ngeraga eno n’eri,

242:24 Yer 14:6ng’endogoyi ey’omu nsiko

eddukira mu ddungu mw’emanyidde,

ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,

mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?

Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;

mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.

252:25 Ma 32:16; Yer 3:13; 14:10Tokooya bigere byo,

era tokaza mimiro gyo.

Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,

sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,

nteekwa okubanoonya.”

262:26 Yer 48:27Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,

n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,

bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,

era ne bannabbi baayo,

272:27 a Yer 3:9 b Yer 18:17; 32:33 c Bal 10:10; Is 26:16nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”

era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”

Bankubye amabega,

naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”

282:28 a Is 45:20 b Ma 32:37 c 2Bk 17:29; Yer 11:13Kale bakatonda be weekolera baluwa?

Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.

Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe

bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.

Okubonerezebwa kutuuse

292:29 Yer 5:1; 6:13; Dan 9:11“Lwaki munneemulugunyiza?

Mwenna mwanneeddiimira,”

bw’ayogera Mukama.

302:30 Nek 9:26; Bik 7:52; 1Bs 2:15Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,

tebakkiriza kugololwa.

Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe

ng’empologoma bw’etta.

312:31 Is 45:19Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.

Mbadde nga ddungu gye muli

ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?

Kale lwaki abantu bange bagamba nti,

“Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”

32Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,

oba omugole okwerabira ekyambalo kye?

Naye ng’ate abantu bange

Bannerabidde!

33Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!

N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.

342:34 a 2Bk 21:16 b Kuv 22:2Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu

n’abatalina musango,

awatali kugamba nti

bakwatibwa nga babba.

Ate nga wadde byonna biri bwe bityo

352:35 a Yer 25:31 b 1Yk 1:8, 10ogamba nti, “Sirina musango,

ddala takyanninako busungu!”

Laba, ŋŋenda kukusalira omusango

olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”

362:36 a Yer 31:22 b Is 30:2, 3, 7Lwaki ogenda ng’okyusakyusa

amakubo go!

Misiri ejja kukuswaza

nga Bwasuli bwe yakuswaza.

372:37 a 2Sa 13:19 b Yer 37:7Era n’eyo olivaayo

ng’emikono ogyetisse ku mutwe,

kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;

tagenda kukuyamba.

Korean Living Bible

예레미야 2:1-37

하나님을 저버린 이스라엘

1여호와께서 나에게 다시 말씀하셨다.

2“너는 가서 예루살렘 주민들에게 나 여호와가 이렇게 말한다고 전하여라. ‘나는 너희가 오래 전에 나에게 쏟은 헌신과 신부처럼 나를 사랑한 것과 메마르고 거친 광야에서 어떻게 나를 따랐는지 잘 기억하고 있다.

3그때 이스라엘은 나의 거룩한 백성 곧 2:3 또는 ‘나의 소산 중’내 백성의 첫열매가 되었으니 그들을 해치는 자들은 모조리 벌을 받아 재앙을 만났다.’ ”

4야곱의 후손인 이스라엘 자손들아, 여호와의 말씀을 들어라.

5여호와께서 이렇게 말씀하셨다. “너희 조상들이 내게서 무슨 잘못을 발견하였기에 나를 버리고 우상을 좇아 헛된 짓을 하였느냐?

6내가 그들을 이집트 땅에서 이끌어내어 메마른 광야, 곧 사막과 구렁이 있고 건조하며 음산하여 사람이 다니지도 않고 살지도 않는 땅을 통과하도록 인도하였으나 그들은 나에게 아무런 관심도 없었다.

7내가 그들을 비옥한 땅으로 인도하여 과일과 풍성한 농작물을 먹게 하였으나 그들은 내 땅을 더럽히고 내가 그들에게 준 유산을 죄악의 땅으로 만들었다.

8그리고 제사장들까지 나를 찾지 않았으며 법관들은 나를 무시하고 관리들도 나를 거역하며 예언자들은 바알의 이름으로 예언하고 헛된 우상을 섬겼다.

9“그래서 2:9 또는 ‘내가 여전히 너희와 다투고 너희 후손과도 다투리라’내가 다시 너희를 책망하고 또 너희 후손들도 책망할 것이다.

10너희는 2:10 또는 ‘깃딤섬들에’키프러스섬 서쪽 연안 지역에 건너가 보고 또 게달에도 사람을 보내 이런 일이 있었는지 한번 알아보아라.

11어느 나라가 자기들의 신을 바꾼 일이 있느냐? 그들의 신은 진짜 신이 아닌데도 자기들의 신을 바꾼 나라는 하나도 없었다. 그러나 나의 백성은 자기들에게 영광이 되었던 나를 자기들에게 아무런 도움이 되지 않는 신과 바꾸어 버렸다.

12이것은 하늘도 두려워 떨고 놀랄 일이다.

13내 백성이 범한 두 가지 죄는 생수의 샘인 나를 버린 것과 물을 담을 수 없는 터진 웅덩이를 스스로 판 것이다.

14“이스라엘아, 네가 노예냐? 씨종이냐? 어째서 네가 2:14 또는 ‘포로가’희생물이 되었느냐?

15너의 대적들이 사자처럼 으르렁거리며 달려들어 네 땅을 못 쓰게 하였고 네 성들은 불타서 폐허가 되었으며

162:16 히 ‘놉’멤피스와 다바네스 사람들도 네 머리의 면류관을 부숴 버렸다.

17내가 너를 인도할 때에 네 하나님 여호와를 저버림으로 네가 이런 일을 자청한 것이 아니냐?

18“네가 2:18 또는 ‘시흘의 물을’나일 강물을 마시려고 이집트로 갔다가 얻은 것이 무엇이며 2:18 또는 ‘그 하수를’유프라테스 강물을 마시려고 앗시리아로 갔다가 얻은 것이 무엇이냐?

19네 악이 너를 벌할 것이며 나를 버린 배신 행위가 너를 책망할 것이다. 네 하나님 여호와를 저버린 것과 네가 나를 두려워하지 않는 바로 그것이 악이요 쓰라린 고통인 것을 네가 알게 될 것이다. 이것은 전능한 나 여호와의 말이다.

20“오래 전에 너는 2:20 또는 ‘네 멍에를’내 멍에를 벗어 버리며 내 속박을 끊어 버리고 나를 섬기지 않겠다고 말하며 모든 높은 산과 모든 푸른 나무 아래서 우상 앞에 절하였다.

21내가 너를 순종의 제일 좋은 포도나무로 심었는데 네가 어째서 나를 대적하여 이방 포도나무의 형편없는 가지가 되었느냐?

22나 주 여호와가 말하지만 네가 아무리 잿물로 씻고 많은 비누를 사용한다고 해도 네 죄는 여전히 내 앞에 있을 것이다.

23네가 어떻게 자신을 더럽히지 않고 바알을 섬기지 않았다고 말할 수 있느냐? 골짜기에 있는 길을 보아라. 네가 행한 일을 알게 될 것이다. 너는 정신 없이 이리저리 뛰어다니는 암낙타 같고

24광야에 익숙한 들나귀가 성욕에 못 이겨 날뛰는 것 같았다. 누가 그것을 막을 수 있겠는가? 그것을 찾는 수놈이 수고할 필요가 없는 것은 발정기가 되면 그들은 자연히 만나게 되기 때문이다.

25나는 너에게 ‘신발을 벗은 채 목이 타도록 헤매고 다니면서 이방 신을 찾지 말라’ 고 하였으나 너는 ‘아니오, 가망 없는 일입니다. 내가 이방 신들을 사랑했으니 나는 그들을 따라가겠습니다’ 하였다.

26“도둑이 붙들리면 수치를 당하는 것처럼 이스라엘의 모든 사람, 곧 왕들과 지도자들과 제사장들과 예언자들도 수치를 당할 것이다.

27그들은 나무를 보고 ‘너는 나의 아버지다’ 하고 돌을 보고서는 ‘너는 나를 낳았다’ 하며 나에게 등을 돌리고 나를 외면하다가도 환난을 당하면 ‘와서 우리를 구원하소서’ 하고 말한다.

28네가 만든 신들은 어디 있느냐? 네가 환난을 당할 때 그들이 너를 구원할 수 있으면 너를 구하게 하라. 유다야, 너의 신들이 네 성의 수만큼이나 많구나!

29“너희 불만이 무엇이냐? 너희가 어째서 나를 반역하느냐?

30내가 너희 자녀들을 벌하였으나 아무 소용이 없었다. 그들도 내가 타이를 때 듣지 않았다. 너희는 사나운 사자처럼 너희 예언자들을 죽였다.

31“내 백성들아, 나 여호와가 하는 말을 들어라. 내가 이스라엘에게 광야나 흑암의 땅처럼 된 적이 있느냐? 어째서 내 백성은 ‘우리가 자유로운 몸이 되었으니 다시는 주께로 가지 않겠습니다’ 하고 말하는가?

32처녀가 어떻게 그 패물을 잊을 수 있으며 신부가 어떻게 그 고운 옷을 잊을 수 있겠는가? 그러나 내 백성은 까마득하게 나를 잊어버렸다.

33“너희가 사랑을 추구하는 수법이 보통이 아니구나. 가장 능숙한 창녀도 오히려 너희에게 배워야 하겠다.

34너희 옷에는 집 안에 침입한 강도의 피가 아닌 가난하고 죄 없는 사람의 피가 묻어 있다.

35그런데도 너희는 뻔뻔스럽게 ‘나에게는 아무 죄가 없으므로 여호와께서 분노를 내게서 돌이키셨다’ 하는구나. 그러나 너희가 죄를 짓지 않았다고 말하기 때문에 나는 너희를 심판할 것이다.

36“너희가 어째서 그처럼 이리저리 바쁘게 쫓아다니느냐? 너희가 앗시리아에게 수치를 당한 것처럼 이집트에게도 수치를 당할 것이다.

37결국 너희는 이집트에서도 얼굴을 들지 못하고 떠나게 될 것이다. 이것은 너희가 의지하는 자들을 나 여호와가 버렸으므로 너희가 그들에게서 아무런 도움을 받지 못할 것이기 때문이다.”