Yeremiya 17 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 17:1-27

Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda

117:1 a Yob 19:24 b Nge 3:3; 2Ko 3:3“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma

n’ejjinja essongovu;

kirambiddwa ku mitima gyabwe

ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.

217:2 a 2By 24:18 b Yer 2:20N’abaana baabwe basinziza

ku byoto bya bakatonda ba Asera

ebiri ku buli muti oguyimiridde

era ne ku busozi obuwanvu.

317:3 a 2Bk 24:13 b Yer 26:18; Mi 3:12 c Yer 15:13Olusozi lwange oluli mu nsi,

obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,

ndibiwaayo byonna binyagibwe

n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira

olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.

417:4 a Kgb 5:2 b Ma 28:48; Yer 12:7 c Yer 16:13 d Yer 7:20; 15:14Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,

ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,

kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa

ogunaayakanga emirembe gyonna.”

517:5 Is 2:22; 30:1-3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu

era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,

era alina omutima oguva ku Katonda.

617:6 Ma 29:23; Yob 39:6Aliba ng’ekisaka mu ddungu,

ataliraba birungi bwe birijja,

naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,

ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.

717:7 Zab 34:8; 40:4; Nge 16:20Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,

nga Mukama ly’essuubi lye.

817:8 a Yer 14:1-6 b Zab 1:3; 92:12-14Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,

ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,

nga wadde omusana gujja, tegutya

n’amakoola gaagwo tegawotoka,

so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya

era teguliremwa kubala bibala.

917:9 Mub 9:3; Mat 13:15; Mak 7:21-22Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,

era gulwadde endwadde etawonyezeka.

Ani ayinza okugutegeera?

1017:10 a 1Sa 16:7; Kub 2:23 b Zab 17:3; 139:23; Yer 11:20; 20:12; Bar 8:27 c Zab 62:12; Yer 32:19 d Bar 2:6“Nze Mukama nkebera omutima,

ngezesa emmeeme,

okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,

ng’ebikolwa bye bwe biri.”

1117:11 Luk 12:20Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,

bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;

obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,

bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.

1217:12 Yer 3:17Ekifo kyaffe ekitukuvu,

ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.

1317:13 a Yer 14:8 b Is 1:28; Yer 2:17Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,

bonna abakuvaako baliswala.

Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,

kubanga bavudde ku Mukama,

oluzzi olw’amazzi amalamu.

1417:14 Zab 109:1Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,

ndokola nange nnaalokoka,

kubanga ggwe gwe ntendereza.

1517:15 Is 5:19; 2Pe 3:4Tobakkiriza kuŋŋamba nti,

“Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?

Ka kituukirire nno kaakano!”

16Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,

omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.

Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.

1717:17 a Zab 88:15-16 b Yer 16:19; Nak 1:7Toba wa ntiisa gye ndi,

ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.

1817:18 Zab 35:1-8Abo abanjigganya leka baswale,

era onkuume nneme kuswala;

leka bagwemu ekyekango

nze onkuume nneme okwekanga,

batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,

bazikiririze ddala.

Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu

1917:19 Yer 7:2; 26:2Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 2017:20 a Yer 19:3 b Yer 22:2Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 2117:21 Kbl 15:32-36; Nek 13:15-21; Yk 5:10Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 2217:22 Kuv 20:8; 31:13; Is 56:2-6; Ez 20:12era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 2317:23 a Yer 7:26 b Yer 19:15 c Yer 7:28Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 2517:25 2Sa 7:13; Is 9:7; Yer 22:2, 4; Luk 1:32olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 2617:26 Yer 32:44; 33:13; Zek 7:7Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 2717:27 a Yer 22:5 b Yer 7:20 c 2Bk 25:9; Am 2:5Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 17:1-27

犹大的罪与罚

1犹大人的罪是用铁笔记录的,用钻石镌刻的,写在了他们心坎上和祭坛角上。 2他们的儿女没有忘记绿树下、高岗上、 3山野间的丘坛和亚舍拉神像。因为他们境内的罪恶,我必使敌人掳掠他们的财宝和神庙。 4他们必失去我赐给他们的产业,被敌人掳到异乡做奴隶,因为他们激起了我的怒火,永难熄灭。”

5耶和华说:

“信靠世人、倚靠血肉之躯、

背叛耶和华的人该受咒诅!

6这样的人毫无福乐,

像沙漠中的灌木。

他要住在旷野中干旱无人的盐碱地。

7信靠耶和华、倚靠耶和华的人有福了!

8这样的人像一棵栽在水边的树,

根扎入水中,

不怕炎热,不怕干旱,

绿叶如荫,不断结果。

9“人心比什么都诡诈,

无可救药,

谁能识透呢?

10我耶和华鉴察人心,

察看人的意念,

按照人的行为报应人。”

11谋取不义之财的人就像孵其他鸟蛋的鹧鸪,

他中年便会失去不义之财,

最后成了愚昧之人。

12我们的圣殿是从太初就矗立在高处的荣耀宝座。

13耶和华啊,你是以色列的盼望。

背弃你的人必蒙羞,

背叛你的人必像写在尘土上的名字一样消逝,

因为他们背弃了耶和华——活水的源泉。

14耶和华啊,

你医治我,我必痊愈;

你拯救我,我必脱离危难,

因为你是我所赞美的。

15人们常讥讽我说:“耶和华说的那些事在哪里?

怎么还没有实现呢?”

16但我并没有逃避牧养你子民的工作,

也没有求你降祸给他们。

你知道我说的每一句话。

17你是我患难中的避难所,

求你不要使我恐惧。

18愿你使那些迫害我的人蒙羞,

不要使我蒙羞;

愿你使他们惊慌,

不要使我惊慌。

求你使他们大祸临头,

彻底毁灭他们。

遵守安息日

19耶和华对我说:“你去站在犹大君王出入的城门前和耶路撒冷的各城门前, 20宣告,‘从这些城门进出的犹大君王、百姓以及耶路撒冷的居民啊,你们都要听耶和华的话。 21耶和华说,如果你们想保住性命,就要小心,不要在安息日带货物进耶路撒冷的城门, 22也不要从家中运出货物,不要在安息日做任何工作。要按照我对你们祖先的吩咐守安息日为圣日。 23然而,他们却不听,毫不理会,顽固不化,不肯受教。

24“‘耶和华说,你们要留心听我的话,在安息日不可运货物进耶路撒冷的城门,不可做任何工作,要守安息日为圣日。 25这样,坐大卫宝座的君王及其官员必乘车骑马和犹大人以及耶路撒冷的居民从城门出入。这城必永远有人居住。 26人们必带着燔祭、平安祭、素祭、乳香和感恩祭从犹大的城邑、耶路撒冷四周、便雅悯地区、丘陵、山区和南地去耶和华的殿。 27但如果你们不听我的话,不守安息日为圣日,仍在安息日运货物进耶路撒冷的城门,我必在各城门点起无法扑灭的大火,烧毁耶路撒冷的宫殿。’”