Omubuulizi 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 11:1-10

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

111:1 a nny 6; Is 32:20; Kos 10:12 b Ma 24:19; Nge 19:17; Mat 10:42Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,

kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.

2Gabiranga musanvu weewaawo munaana,

kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.

3Ebire bwe bijjula amazzi,

bitonnyesa enkuba ku nsi;

n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,

mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.

4Oyo alabirira embuyaga talisiga;

n’oyo atunuulira ebire talikungula.

511:5 a Yk 3:8-10 b Zab 139:14-16Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,

oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;

bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda

Omutonzi wa byonna by’akola.

611:6 Mub 9:10Ku makya siga ensigo zo,

n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;

kubanga tomanyi eziryala,

zino oba ziri,

oba zombi ziriba nnungi.

711:7 Mub 7:11Ekitangaala kirungi,

era okulaba ku musana kisanyusa.

811:8 Mub 12:1Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,

agisanyukirengamu gyonna,

naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza

nnyingi ezijja.

Ebyo byonna ebijja butaliimu.

911:9 Yob 19:29; Mub 2:24; 3:17; 12:14; Bar 14:10Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,

n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;

tambulira mu makubo g’omutima gwo

ne mu kulaba kw’amaaso go.

Naye manya nga mu byonna,

Katonda agenda kukusalira omusango.

1011:10 a Zab 94:19 b Mub 2:24Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima

era weggyeko emitawaana mu ggwe,

kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.