Oluyimba 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 6:1-13

Abemikwano

16:1 a Lu 5:6 b Lu 1:8Muganzi wo alaze wa,

ggwe akira abakyala bonna obulungi?

Muganzi wo yakutte lya wa

tumukunoonyezeeko?

Omwagalwa

26:2 a Lu 5:6 b Lu 4:12 c Lu 5:13Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,

mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,

okulabirira ennimiro ye

n’okunoga amalanga.

36:3 a Lu 7:10 b Lu 2:16Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;

anoonyeza mu malanga.

Owoomukwano

46:4 a Yos 12:24 b Zab 48:2; 50:2 c nny 10Oli mubalagavu nga Tiruza,6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono

omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,

era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.

56:5 Lu 4:1Tontunuulira nnyo

kubanga amaaso go gantawanya.

Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,

eziserengeta okuva e Gireyaadi.

66:6 Lu 4:2Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga

eziva okunaazibwa;

buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,

so tewali eri yokka.

76:7 a Lub 24:65 b Lu 4:3Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,

buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.

86:8 a Zab 45:9 b Lub 22:24Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,

n’abazaana kinaana,

n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,

96:9 a Lu 1:15 b Lu 5:2 c Lu 3:4ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,

mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina

okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.

Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;

bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

Abemikwano

10Ani ono alabika ng’emmambya,

omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,

alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?

Owoomukwano

116:11 Lu 7:12Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza

okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,

okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,

n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.

12Bwe nnali nkyali awo

emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.

Abemikwano

136:13 Kuv 15:20Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;

komawo, komawo tukutunuleko.

Owoomukwano

Lwaki mutunuulira Omusulamu

ng’abali ku mazina ga Makanayimu?