Olubereberye 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 9:1-29

Endagaano ya Katonda ne Nuuwa

19:1 Lub 1:22Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. 2Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. 39:3 Lub 1:29Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.

49:4 Lv 3:17; 17:10-14; Ma 12:16, 23-25; 1Sa 14:33“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. 59:5 a Kuv 21:28-32 b Lub 4:10Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.

69:6 a Lub 4:14; Kuv 21:12, 14; Lv 24:17; Mat 26:52 b Lub 1:26“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,

n’ogugwe gunaayiibwanga,

kubanga mu kifaananyi kya Katonda,

Katonda mwe yakolera omuntu.

79:7 Lub 1:22Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”

Endagaano ne Nuuwa

8Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali 99:9 Lub 6:18nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 119:11 a nny 16; Is 24:5 b Lub 8:21; Is 54:9Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

129:12 nny 17; Lub 17:11Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.

14“Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 159:15 Kuv 2:24; Lv 26:42, 45; Ma 7:9; Ez 16:60ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 169:16 nny 11; Lub 17:7, 13, 19; 2Sa 7:13; 23:5Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”

179:17 nny 12; Lub 17:11Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”

Batabani ba Nuuwa

189:18 nny 25-27; Lub 10:6, 15Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 199:19 Lub 10:32Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.

Kanani Akolimirwa, Seemu ye Aweebwa Omukisa

20Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.

24Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 259:25 a nny 18 b Lub 25:23; Yos 9:23N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,

“Kanani akolimirwe,

abeere muddu wa baddu eri baganda be.”

26Era n’agamba nti,

Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,

Kanani abeere muddu we.”

27Katonda yaza Yafeesi,

abeere mu weema za Seemu,

Kanani abeere muddu we.

28Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.