Olubereberye 48 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 48:1-22

Yakobo Asabira Batabani ba Yusufu Omukisa

148:1 Lub 41:52Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; 2Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”

Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. 348:3 a Lub 28:19 b Lub 28:13; 35:9-12N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. 448:4 Lub 17:6N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’

548:5 a Lub 41:50-52; 46:20 b 1By 5:1; Yos 14:4“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. 6N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. 748:7 Lub 35:19Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”

8Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”

948:9 a Lub 33:5 b Lub 27:4Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”

N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”

1048:10 a Lub 27:1 b Lub 27:27Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.

1148:11 Lub 50:23; Zab 128:6Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”

12Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 1348:13 Zab 110:1Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 1448:14 Lub 41:51Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.

1548:15 a Lub 17:1 b Lub 49:24N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange

Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,

Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna

okutuusa leero,

1648:16 a Beb 11:21 b Lub 28:13Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,

owe omukisa abalenzi bano.

Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo

era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.

Era bafuuke ekibiina ekinene

mu maaso g’ensi.”

1748:17 nny 14Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”

1948:19 a Lub 17:20 b Lub 25:23Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 2048:20 a Kbl 2:18 b Kbl 2:20; Lus 4:11Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,

“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,

‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”

Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.

2148:21 a Lub 26:3; 46:4 b Lub 28:13; 50:24Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 2248:22 a Yos 24:32; Yk 4:5 b Lub 37:8Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 48:1-22

雅各祝福以法莲和玛拿西

1后来,有人来通知约瑟,说他父亲病了,约瑟就带着两个儿子玛拿西以法莲去探望父亲。 2雅各听说约瑟来了,就强撑着从床上坐起来, 3约瑟说:“全能的上帝曾经在迦南路斯向我显现,赐福给我。 4祂对我说,‘我必使你生养众多,子孙兴旺,并把迦南赐给你和你的后裔永远作产业。’

5“我来之前,你在埃及生的两个儿子以法莲玛拿西都算我的,他们可以像吕便西缅一样承受我的产业。 6除了他们以外,你其他子女仍然归你,这些子女可以在他们弟兄的名下继承产业。 7我从巴旦回来的路上,拉结死在了迦南,那地方离以法他还有一段路程,我把她葬在通往以法他的路旁。”以法他就是伯利恒

8以色列看见约瑟的两个儿子,就问:“这是谁?” 9约瑟说:“是上帝在这里赐给我的儿子。”以色列说:“把他们带过来,我要祝福他们。” 10以色列因为年老眼睛已经昏花。约瑟把儿子带到他面前,他就亲吻他们、拥抱他们。 11以色列约瑟说:“我以为再也见不到你了,上帝竟然还让我见到了你的儿子!” 12约瑟把两个儿子从以色列的膝旁领开,自己向父亲俯伏下拜, 13随后左手牵着玛拿西,右手牵着以法莲,把他们分别领到以色列的右边和左边。 14以色列却两手交叉,把右手放在约瑟次子以法莲的头上,左手放在约瑟长子玛拿西的头上。 15他祝福约瑟说:“愿我祖先亚伯拉罕以撒敬拜的上帝,牧养我一生直到今天的上帝, 16救我脱离一切患难的天使,赐福这两个孩子。愿我和我祖先亚伯拉罕以撒的名字借着他们流传。愿他们在地上子孙兴旺。”

17约瑟见父亲把右手放在以法莲的头上,感到不悦,就把父亲的右手从以法莲的头上挪到玛拿西头上, 18对父亲说:“父亲,你弄错了,这才是长子,你应该把右手按在他的头上。” 19他父亲却不同意,说:“我儿啊,我知道,我知道。他必发展成一个强大的民族,但他弟弟将比他更强大,他弟弟的后裔必成为多个民族。” 20雅各那天祝福他们,说:“以色列人必引用你们的名祝福人,说,‘愿上帝使你们像以法莲玛拿西一样!’”他把以法莲排在玛拿西前面。

21以色列约瑟说:“我快死了,但上帝必与你们同在,带你们回到你们祖先的土地。 22我要把我用刀和弓从亚摩利人手上夺来的那块地留给你,让你比其他弟兄多得一份。”