Olubereberye 41 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 41:1-57

Ekirooto kya Falaawo

141:1 Lub 20:3Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira; 241:2 a nny 26 b Is 19:6laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu. 3Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lw’omugga. 4Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo n’azuukuka. 5Ate n’addamu okwebaka n’aloota ekirooto ekirala, laba ebirimba eby’emmere ey’empeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu. 6Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba nabyo ne biddirira. 7Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo n’azuukuka, laba nga kibadde kirooto.

841:8 a Dan 2:1, 3; 4:5, 19 b Kuv 7:11, 22; Dan 1:20; 2:2, 27; 4:7Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.

9Awo omusenero wa Falaawo n’agamba Falaawo nti, “Ntegedde nasobya nnyo. 1041:10 a Lub 40:2 b Lub 39:20Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, nze n’omukulu w’abafumbi n’atuteeka mu kkomera, 1141:11 Lub 40:5ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo. 1241:12 Lub 40:12Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu w’abambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali. 1341:13 Lub 40:22Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, n’awanikibwa ku muti.”

Falaawo ategeeza Yusufu ekirooto kye

1441:14 Zab 105:20; Dan 2:25Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe41:14 okumwebwa omutwe Abamisiri baamwanga ebirevu n’enviiri, ekintu Abaebbulaniya kye bataakolanga. n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo. 1541:15 Dan 5:16Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.” 1641:16 Lub 40:8; Dan 2:30; Bik 3:12; 2Ko 3:5Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”

17Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lw’omugga Kiyira; 18ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu; 19ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi y’e Misiri nazo ne zijja. 20Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose, 21naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.

22“Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu, 23n’ebirimba ebirala musanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba, nabyo ne bivaayo. 2441:24 nny 8Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo n’omu abivvuunula.”

2541:25 Dan 2:45Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola. 2641:26 nny 2Ente omusanvu ennungi gy’emyaka musanvu n’ebirimba omusanvu ebigimu gy’emyaka musanvu; ekirooto kiri kimu. 2741:27 Lub 12:10; 2Bk 8:1Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.

28“Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola. 2941:29 nny 47Wajja kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri, 3041:30 a nny 54; Lub 47:13 b Lub 47:56naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi. 31Ekyengera tekirimanyika n’akatono olw’enjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna. 3241:32 Kbl 23:19; Is 46:10-11Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu. 3341:33 nny 39Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri. 3441:34 a 1Sa 8:15 b nny 48Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano eky’emmere ey’empeke yonna mu nsi ey’e Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egy’ekyengera. 3541:35 nny 48Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume. 3641:36 nny 56Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”

Falaawo Afuula Yusufu Omufuzi

3741:37 Lub 45:16Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo n’ag’abaweereza be bonna. 3841:38 Kbl 27:18; Yob 32:8; Dan 4:8-9, 18; 5:11, 14Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?” 39Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Katonda nga bw’akulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe. 4041:40 Zab 105:21-22; Bik 7:10Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo.” 4141:41 Lub 42:6; Dan 6:3Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.” 4241:42 a Es 3:10 b Dan 5:7, 16, 29Olwo Falaawo n’alyoka aggya empeta41:42 Empeta zakozesebwanga okukakasa ebiwandiiko ebikulu. ku ngalo ye n’aginaanika Yusufu, n’amwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 4341:43 Es 6:9N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.

4441:44 Zab 105:22Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.” 4541:45 nny 50; Lub 46:20, 27Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna.

Ekirooto kituukirira

4641:46 a Lub 37:2 b 1Sa 16:21; Dan 1:19Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna. 47Mu myaka omusanvu egy’ekyengera emmere yabala n’ekamala. 48Yusufu n’akuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera n’agiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga n’akuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde. 49Yusufu n’atereka emmere mpitirivu, n’ebanga omusenyu ogw’oku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.

5041:50 Lub 46:20; 48:5Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. 5141:51 Lub 48:14, 18, 20Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.” 5241:52 a Lub 48:1, 5; 50:23 b Lub 17:6; 28:3; 49:22Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”

53Awo emyaka omusanvu egy’ekyengera ekyali mu nsi y’e Misiri ne giggwaako. 5441:54 nny 30; Zab 105:11; Bik 7:11Emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika nga Yusufu bwe yayogera. Enjala n’egwa n’ebuna mu nsi zonna, kyokka yo mu Misiri nga emmere mweri. 5541:55 a Ma 32:24 b nny 41Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere. Falaawo n’agamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; ky’anaabagamba, kye muba mukola.”

5641:56 Lub 12:10Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu n’asumulula ebyagi by’emmere byonna; n’aguza Abamisiri emmere. 5741:57 Lub 42:5; 47:15Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Genesis 41:1-57

Maloto a Farao

1Patapita zaka ziwiri zathunthu, Farao analota atayimirira mʼmbali mwa mtsinje wa Nailo, 2ndipo anangoona ngʼombe zazikazi zisanu ndi ziwiri zooneka bwino ndi zonenepa zikutuluka mu mtsinje muja ndi kuyamba kudya msipu wa mu mawango. 3Kenaka ngʼombe zina zazikazi zisanu ndi ziwiri zosaoneka bwino ndi zowonda zinatulukanso mu mtsinje wa Nailo ndipo zinayimirira pambali pa zina zija zimene zinali mʼmphepete mwa mtsinje uja. 4Ndipo ngʼombe zosaoneka bwino ndi zowonda zija zinadya ngʼombe zonenepa zija. Kenaka Farao anadzidzimuka.

5Posakhalitsa anagonanso ndipo analota kachiwiri: Analota ngala zisanu ndi ziwiri za tirigu zathanzi labwino zitabala pa phata limodzi. 6Kenaka ngala zina zisanu ndi ziwiri zinaphuka. Izi zinali zowonda ndi zowauka ndi mphepo ya kummawa. 7Ngala zowonda zija zinameza ngala zathanzi ndi zonenepa zija. Farao anadzidzimuka ndipo anaona kuti anali maloto chabe.

8Mmawa, Farao anavutika mu mtima kotero anayitanitsa amatsenga ndi anzeru onse a mu Igupto. Iwo atabwera, iye anawawuza maloto ake, koma panalibe ndi mmodzi yemwe amene anatha kutanthauzira malotowo kwa Farao.

9Ndipo mkulu wa operekera zakumwa anati kwa Farao, “Lero ndakumbukira kulephera kwanga. 10Paja nthawi ina Farao anapsera mtima antchito akefe, ndipo anatitsekera (ine ndi mkulu wa ophika buledi) mʼndende, mʼnyumba ya mkulu wa alonda. 11Tsiku lina tonse awiri tinalota maloto, ndipo loto lililonse linali ndi tanthauzo lake. 12Tsono momwemo munali mnyamata wina Wachihebri, wantchito wa mkulu wa alonda. Ife tinamufotokozera maloto athu, ndipo anatitanthauzira malotowo. Munthu aliyense anamupatsa tanthauzo la loto lake. 13Ndipo zinthu zinachitikadi monga mmene anatitanthauzira. Ine anandibwezera pa ntchito yanga ndipo winayo anapachikidwa.”

14Choncho Farao anamuyitanitsa Yosefe, ndipo mofulumira anabwera naye kuchokera mʼdzenje muja. Ndipo atameta, ndi kusintha zovala, anapita kwa Farao.

15Farao anati kwa Yosefe, “Ndinalota maloto ndipo palibe amene watha kunditanthauzira. Tsono ndawuzidwa kuti iwe ukamva loto umadziwanso kulimasulira.”

16Yosefe anamuyankha Farao kuti, “Sindingathe koma Mulungu apereka yankho limene Farao akufuna.”

17Ndipo Farao anati kwa Yosefe, “Ndinalota nditayimirira mʼmphepete mwa mtsinje wa Nailo, 18ndipo ngʼombe zisanu ndi ziwiri zonenepa ndi zooneka bwino zinatuluka mu mtsinje muja ndi kumadya msipu wa mu mawango. 19Kenaka, ngʼombe zina zisanu ndi ziwiri zinatuluka. Izi zinali zosaoneka bwino ndiponso zowonda ndipo sindinaonepo ngʼombe zosaoneka bwino chonchi mʼdziko lonse la Igupto. 20Ngʼombe zosaoneka bwino ndi zowonda zija zinadya zisanu ndi ziwiri zonenepa zimene zinatuluka poyamba zija. 21Koma ngakhale ngʼombezi zinadya zinazo, palibe amene akanatha kuzindikira kuti zinatero popeza zinali zosaonekabe bwino monga poyamba. Ndipo ndinadzidzimuka.

22“Nditagonanso kachiwiri, ndinalota ngala zisanu ndi ziwiri za tirigu zathanzi ndi zonenepa zitabala pa phata limodzi. 23Kenaka panaphukanso ngala zina zisanu ndi ziwiri zofota, zowonda ndi zowauka ndi mphepo ya kummawa. 24Ngala zowondazo zinameza ngala zisanu ndi ziwiri zabwino zija. Ndinawawuza amatsenga koma palibe ndi mmodzi yemwe anatha kundimasulira.”

25Ndipo Yosefe anati kwa Farao, “Maloto awiriwa ndi ofanana ndipo ali ndi tanthauzo limodzi. Mulungu waululira Farao chimene atachite. 26Ngʼombe zisanu ndi ziwiri zabwinozo ndi zaka zisanu ndi ziwiri. Ndipo ngala zisanu ndi ziwiri zabwinozo ndi zaka zisanu ndi ziwiri. Kutanthauza kwa maloto nʼkumodzi. 27Ngʼombe zisanu ndi ziwiri zowonda ndi zosaoneka bwino zimene zinatuluka pambuyozo ndiponso ngala zisanu ndi ziwiri zachabechabe, zowauka ndi mphepo ya kummawa zija ndi zaka zisanu ndi ziwiri za njala.

28“Tsono ndi monga ndafotokozeramu kuti Mulungu wakuwuziranitu zimene adzachite. 29Zaka zisanu ndi ziwiri za zokolola zochuluka zikubwera mu dziko lonse la Igupto, 30koma zidzatsatana ndi zaka zina zisanu ndi ziwiri za njala. Chakudya chochuluka cha mu Igupto chija chidzayiwalika ndipo njalayo idzawononga dziko. 31Zakudya zochuluka za mʼdzikomo zija sizidzakumbukirikanso chifukwa njala imene iti idzabwereyo idzakhala yoopsa. 32Popeza kuti malotowa aperekedwa kwa inu Mfumu kawiri, ndiye kuti Mulungu watsimikiza kuti adzachitadi zimenezi posachedwapa.

33“Tsopano Farao apezeretu munthu wozindikira ndi wanzeru ndipo amuyike kukhala woyangʼanira dziko lonse la Igupto. 34Asankhenso akuluakulu a mʼdziko lino. Iwowa azitenga ndi kuyika padera limodzi la magawo asanu aliwonse a zokolola za mʼdziko muno mu zaka zonse zisanu ndi ziwiri za chakudya chochuluka. 35Iwo asonkhanitse zakudya zonse za mʼzaka zabwino zikubwerazi. Pansi pa ulamuliro wa Farao, akuluakuluwo asonkhanitse ndi kusunga bwino tirigu mʼmizinda yonse. 36Chakudya chimenechi chisungidwe kuti chidzagwiritsidwe ntchito mʼzaka zisanu ndi ziwiri za njala imene ikubwerayo mu Igupto, kuti anthu a mʼdzikoli asadzafe ndi njalayo.”

37Farao ndi nduna zake anagwirizana nawo malangizo a Yosefe. 38Choncho Farao anafunsa nduna zake nati, “Kodi tingathe kumupeza munthu wina ngati uyu, amene ali ndi mzimu wa Mulungu?”

39Farao anati kwa Yosefe, “Pakuti Mulungu wakudziwitsa iwe zonsezi, palibe wina wodziwa zinthu ndi wanzeru ngati iwe. 40Iwe ukhala nduna yayikulu mu dziko langa ndipo anthu onse adzamvera zimene walamula. Ine ndekha ndiye amene ndidzakuposa mphamvu chifukwa ndimakhala pa mpando waufumu.”

Yosefe Alamulira Dziko la Igupto

41Choncho Farao anati kwa Yosefe, “Ine ndikukuyika iwe kukhala nduna yoyangʼanira dziko lonse la Igupto.” 42Ndipo Farao anavula mphete ku chala chake nayiveka ku chala cha Yosefe. Anamuvekanso mkanjo wonyezimira ndi nkufu wagolide mʼkhosi mwake. 43Anamukweza Yosefe pa galeta ngati wachiwiri pa ulamuliro. Ndipo anthu anafuwula pamaso pake nati, “Mʼgwadireni!” Motero anakhala nduna yayikulu ya dziko lonse la Igupto.

44Kenaka Farao anati kwa Yosefe, “Ine ndine Farao; tsono iwe ukapanda kulamula, palibe amene akhoza kuchita chilichonse ngakhale kuyenda kumene mʼdziko lonse la Igupto.” 45Farao anamupatsa Yosefe dzina lakuti Zafenati-Panea ndipo anamupatsanso Asenati mwana wa mkazi wa Potifara, wansembe wa Oni, kuti akhale mkazi wake. Choncho Yosefe anayendera dziko lonse la Igupto.

46Yosefe anali ndi zaka 30 pamene amayamba ntchito kwa Farao, mfumu ya ku Igupto. Ndipo Yosefe anachoka pa maso pa Farao nayendera dziko lonse la Igupto. 47Mʼzaka zisanu ndi ziwiri za zokolola zambiri zija, anthu mʼdzikomo anakolola zochuluka. 48Yosefe anasonkhanitsa zakudya zonse zokololedwa mʼzaka zisanu ndi ziwiri zija ndipo anazisunga mʼmizinda. Mu mzinda uliwonse anayikamo chakudya chimene chinalimidwa mʼminda yozungulira komweko. 49Yosefe anasunga tirigu wochuluka kwambiri ngati mchenga wa ku nyanja. Kunali tirigu wochuluka kwambiri motero kuti analeka nʼkulembera komwe.

50Zisanafike zaka zanjala, Yosefe anabereka ana aamuna awiri mwa Asenati mwana wa mkazi wa Potifara, wansembe wa Oni. 51Yosefe anamutcha mwana wake woyamba, Manase popeza anati, “Mulungu wandiyiwalitsa zovuta zanga zija ndiponso banja la abambo anga.” 52Mwana wachiwiri wa mwamuna anamutcha Efereimu popeza anati, “Mulungu wandipatsa ana mʼdziko la masautso anga.”

53Zaka zisanu ndi ziwiri za zokolola zochuluka zija zinatha, 54ndipo zaka zisanu ndi ziwiri za njala zija zinayamba monga ananenera Yosefe. Njalayi inafika ku mayiko ena onse koma ku dziko lonse la Igupto kunali chakudya. 55Pamene njala ija inakwanira dziko lonse la Igupto anthu analilira Farao kuti awapatse chakudya. Koma Farao anawawuza kuti, “Pitani kwa Yosefe ndipo mukachite zimene akakuwuzeni.”

56Pamene njala inafalikira dziko lonse, Yosefe anatsekula nkhokwe za zakudya namagulitsa tirigu kwa anthu a ku Igupto aja, pakuti njala inafika poyipa kwambiri mu Igupto monse. 57Anthu ankabwera ku Igupto kuchokera ku mayiko ena onse kudzagula tirigu kwa Yosefe, chifukwa njala inafika poyipa kwambiri pa dziko lonse lapansi.