Olubereberye 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 4:1-26

Kayini ne Aberi

1Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” 24:2 Luk 11:51Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi.

Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. 34:3 Kbl 18:12Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. 44:4 a Lv 3:16 b Kuv 13:2, 12 c Beb 11:4Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. 5Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.

6Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? 74:7 a Kbl 32:23 b Bar 6:16Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”

Kayini atta Aberi

84:8 Mat 23:35; 1Yk 3:12Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.

9Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”

N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”

104:10 Lub 9:5; Kbl 35:33; Beb 12:24; Kub 6:9-10Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. 11Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. 12Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”

13Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 144:14 a 2Bk 17:18; Zab 51:11; 139:7-12; Yer 7:15; 52:3 b Lub 9:6; Kbl 35:19, 21, 27, 33Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”

154:15 a Ez 9:4, 6 b nny 24; Zab 79:12Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” 164:16 Lub 2:8Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.

Abaana ba Kayini

174:17 Zab 49:11Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. 18Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.

19Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. 20Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. 21Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. 22Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.

234:23 Kuv 20:13; Lv 19:18Lameka n’agamba bakazi be nti,

“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;

mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;

nzise omusajja olw’okunfumita,

nga muvubuka, olw’okunkuba.

244:24 a Ma 32:35 b nny 15Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,

mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”

Okuzaalibwa kwa Seezi

254:25 a Lub 5:3 b nny 8Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” 264:26 Lub 12:8; 1Bk 18:24; Zab 116:17; Yo 2:32; Zef 3:9; Bik 2:21; 1Ko 1:2Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi.

Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.