Olubereberye 37 – LCB & BDS

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 37:1-36

Ekirooto Kya Yusufu n’Obukyayi bwa Baganda be

137:1 a Lub 17:8 b Lub 10:19Yakobo yabeeranga mu Kanani, ensi bajjajjaabe mwe baatambuliratambuliranga.

237:2 a Zab 78:71 b Lub 35:25 c Lub 35:26 d 1Sa 2:24Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo:

Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.

337:3 a Lub 25:28 b Lub 44:20 c 2Sa 13:18-19Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi. 437:4 Lub 27:41; 49:22-23; Bik 7:9Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa.

537:5 Lub 20:3; 28:12Lumu Yusufu n’aloota ekirooto, n’agenda n’akitegeeza baganda be, ne beeyongera nnyo okumukyawa. 6Yabagamba nti, “Muwulire ekirooto kino kye naloose. 737:7 Lub 42:6, 9; 43:26, 28; 44:14; 50:18Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.” 837:8 Lub 49:26Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?” Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olw’ekirooto kye n’ebigambo bye.

9Ate n’aloota ekirooto ekirala n’akitegeeza baganda be, n’agamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye ekkumi n’emu nga binvuunamira.”

1037:10 a nny 5 b nny 7; Lub 27:29Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?” 1137:11 a Bik 7:9 b Luk 2:19, 51Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe n’akuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe.

Yusufu Atundibwa Baganda be

12Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe. 13Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.” 1437:14 Lub 13:18; 35:27N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu.

15Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?” 16N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.” 1737:17 2Bk 6:13Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. 1837:18 1Sa 19:1; Mak 14:1; Bik 23:12Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.

19Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja. 2037:20 a Yer 38:6, 9 b Lub 50:20Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya;37:20 binnya Entobo y’ebinnya ebyo yali ngazi okusinga omumwa gwabyo (Yer 38:6, 13) tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”

2137:21 Lub 42:22Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta. 22Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.

23Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye eky’amabala amangi kye yali ayambadde: 2437:24 Yer 41:7ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi.

2537:25 a Lub 43:11 b nny 28Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.

2637:26 nny 20; Lub 4:10Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe? 2737:27 Lub 42:21Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.

2837:28 a Lub 25:2; Bal 6:1-3 b Lub 45:4-5; Zab 105:17; Bik 7:9Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri. 2937:29 nny 34; Lub 44:13; Yob 1:20Lewubeeni bwe yadda n’alaga ku bunnya n’alaba nga Yusufu taliimu, n’ayuza engoye ze, 3037:30 nny 22; Lub 42:13, 36n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?”

3137:31 nny 3, 23Awo ne baddira ekyambalo kya Yusufu, ne batta embuzi, ne bakinnyika mu musaayi. 32Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.”

3337:33 a nny 20 b Lub 44:20, 28N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.”

3437:34 a nny 29 b 2Sa 3:31 c Lub 50:3, 10, 11Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, n’akungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene. 3537:35 Lub 42:38; 44:22, 29, 31Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu.

3637:36 Lub 39:1Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa.

La Bible du Semeur

Genèse 37:1-36

L’histoire de la famille de Jacob : le cycle de joseph

Les rêves de Joseph

1Jacob s’établit au pays de Canaan où son père avait séjourné. 2Voici l’histoire de la famille de Jacob. Joseph, âgé de dix-sept ans, gardait les moutons et les chèvres avec ses frères. Il avait passé son enfance avec les fils de Bilha et de Zilpa, femmes de son père. Il rapportait à leur père leurs mauvais propos. 3Israël aimait Joseph beaucoup plus que tous ses autres fils, car il l’avait eu dans sa vieillesse. Il lui fit une tunique splendide37.3 Diverses traductions ont été données du qualificatif de cette tunique : bigarrée, princière, de fine laine, à pans, multicolore, ample et longue, à manches longues.. 4Ses frères virent que leur père le préférait à eux tous ; alors ils le prirent en haine, et ils ne pouvaient plus lui parler aimablement.

5Joseph fit un rêve et le raconta à ses frères, qui ne l’en détestèrent que davantage. 6Il leur dit, en effet : Ecoutez, je vous prie, ce songe que j’ai eu. 7Nous étions en train de lier des gerbes dans les champs. Soudain, ma gerbe s’est dressée et s’est tenue debout ; les vôtres se sont placées autour d’elle et se sont prosternées devant elle37.7 Voir 42.6 ; 43.26 ; 44.14..

8Ses frères lui dirent : Prétendrais-tu devenir notre roi et nous gouverner ? Et ils le détestèrent de plus belle à cause de ses songes et de ses propos.

9Il eut encore un autre rêve qu’il raconta également à ses frères : Voici, leur dit-il, j’ai encore fait un rêve. J’ai vu le soleil, la lune et onze étoiles se prosterner devant moi.

10Quand il raconta ce rêve à son père et à ses frères, son père le réprimanda et lui dit : Qu’as-tu rêvé là ? T’imagines-tu que moi, ta mère et tes frères, nous allons nous prosterner en terre devant toi ?

11Ses frères étaient jaloux de lui : mais son père garda la chose en mémoire37.11 Voir Ac 7.9..

Joseph vendu comme esclave

12Les frères de Joseph allèrent faire paître les troupeaux de leur père dans la région de Sichem. 13Israël dit à Joseph : Tes frères font paître les troupeaux à Sichem37.13 A 80 kilomètres d’Hébron. ; va, je veux t’envoyer vers eux.

Joseph répondit : J’y vais.

14Son père lui dit : Va voir comment se portent tes frères et comment vont les troupeaux. Tu m’en rapporteras des nouvelles.

Il l’envoya donc depuis la vallée d’Hébron et Joseph se rendit à Sichem. 15Un homme l’y rencontra, alors qu’il errait dans la campagne. Il lui demanda : Que cherches-tu ?

16– Je cherche mes frères, lui dit-il, peux-tu me dire où ils font paître leurs troupeaux ?

17– Ils sont partis d’ici, lui répondit l’homme, et je les ai entendus dire : « Allons vers Dotân37.17 A une vingtaine de kilomètres au nord de Sichem.. »

Joseph partit donc à la recherche de ses frères et les trouva à Dotân. 18Ceux-ci l’aperçurent de loin. Avant qu’il ne soit près d’eux, ils complotèrent de le faire mourir.

19– Voilà le maître-rêveur qui arrive, se dirent-ils les uns aux autres. 20C’est le moment ! Allez, tuons-le et jetons-le dans une citerne37.20 Creusée dans le sol pour recueillir les eaux, le fond était plus large que l’ouverture (voir Jr 38.6, 13)., nous dirons qu’une bête féroce l’a dévoré. On verra bien alors ce qu’il advient de ses rêves !

21Lorsqu’il entendit cela, Ruben chercha à sauver Joseph. Il dit : Ne portons pas atteinte à sa vie ! 22Il ajouta : Ne répandez pas le sang ! Jetez-le dans cette citerne qui se trouve dans le désert, mais ne portez pas la main sur lui !

Il avait l’intention de le sauver pour le renvoyer à son père.

23Dès que Joseph eut rejoint ses frères, ils le dépouillèrent de sa tunique, cette tunique splendide qu’il portait. 24Ils se saisirent de lui et le jetèrent au fond de la citerne. Elle était vide ; il n’y avait pas d’eau dedans37.24 Voir 42.21.. 25Puis ils s’assirent pour manger. En regardant au loin, ils aperçurent une caravane d’Ismaélites venant de la région de Galaad et dont les chameaux étaient chargés de gomme, de baume et de myrrhe, qu’ils transportaient en Egypte. 26Alors Juda dit à ses frères : Quel intérêt avons-nous à tuer notre frère et à cacher sa mort ? 27Vendons-le plutôt aux Ismaélites. Ne portons pas la main sur lui, car c’est notre frère, il est de même sang que nous.

Ses frères furent d’accord 28et, lorsque les marchands madianites passèrent, ils hissèrent Joseph hors de la citerne et le vendirent aux Ismaélites pour vingt pièces d’argent. Ceux-ci l’emmenèrent en Egypte.

Jacob pleure Joseph

29Quand Ruben retourna à la citerne, il n’y trouva plus Joseph. Alors il déchira ses vêtements en signe de désespoir, 30il alla trouver ses frères et leur dit : Le garçon n’y est plus ! Que vais-je faire maintenant ?

31Alors ils égorgèrent un bouc, prirent la tunique de Joseph et la trempèrent dans le sang du bouc. 32Ils envoyèrent la tunique splendide à leur père en disant : Voici ce que nous avons trouvé. Reconnais-tu ou non la tunique de ton fils ?

33Jacob la reconnut et s’écria : La tunique de mon fils ! Une bête féroce l’a dévoré ! Joseph a été mis en pièces !

34Alors il déchira ses vêtements et mit un tissu de sac sur ses reins. Il porta longtemps le deuil de son fils. 35Tous ses fils et toutes ses filles vinrent pour le consoler ; mais il refusa toute consolation et dit : Non ! c’est dans le deuil que je rejoindrai mon fils au séjour des morts !

Et il continua à pleurer Joseph.

36Les Madianites vendirent37.36 Le trafic d’esclaves était l’une des principales ressources des habitants du désert. Joseph en Egypte à Potiphar, un haut fonctionnaire du pharaon, chef de la garde royale.