Olubereberye 33 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 33:1-20

Yakobo ne Esawu Basisinkana

133:1 Lub 32:6Awo Yakobo n’ayimusa amaaso ge n’alaba Esawu ng’ajja ng’ali n’abasajja ebikumi bina. Yakobo n’alyoka ayawulamu abaana abaali ne Leeya ne Laakeeri awamu n’abaweereza be abakazi ababiri. 2Abaweereza n’abaana baabwe ne bakulembera, Leeya n’abaana be ne baddako, Laakeeri ne Yusufu ne basembayo. 333:3 Lub 18:2; 42:6Ye Yakobo ng’abakulembedde, nga bw’avuunama ku ttaka emirundi musanvu, okutuusa lwe yatuuka okumpi ne muganda we.

433:4 Lub 45:14-15Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amulamusa ng’amugwa mu kifuba n’amunywegera; bombi ne bakaaba. 533:5 Lub 48:9; Zab 127:3; Is 8:18Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”

6Awo abaweereza be abakazi n’abaana baabwe ne basembera, ne bavuunama, mu ngeri y’emu. 7Leeya n’abaana be nabo ne basembera ne bavuunama. Oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera nabo ne bavuunama. 833:8 a Lub 32:14-16 b Lub 24:9; 32:5Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.”

9Naye ye Esawu n’amugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, by’olina beera nabyo.” 1033:10 a Lub 16:13 b Lub 32:20Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu. 1133:11 a 1Sa 25:27 b Lub 30:43Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza.

12Awo Esawu n’agamba nti, “Kale tutambule, nze nzija okukukulemberamu.”

13Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti abaana banafu, era n’ebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa. 1433:14 Lub 32:3Mukama wange k’aleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula y’ebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula y’abaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.”

Yakobo agenda e Sekemu

1533:15 Lub 34:11; 47:25; Lus 2:13Awo Esawu n’agamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.” 16Bw’atyo Esawu n’addayo ku lunaku olwo mu Seyiri. 1733:17 Yos 13:27; Bal 8:5, 6, 8, 14-16; Zab 60:6Naye Yakobo n’alaga mu Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n’azimbira n’ensolo ebisiisira; ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Sukkosi.

1833:18 a Lub 25:20; 28:2 b Yos 24:1; Bal 9:1Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. 1933:19 a Yos 24:32 b Yk 4:5Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi. 20N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 33:1-20

弟兄重逢

1雅各远远看见以扫带着四百人迎面而来,便把孩子们分别交给利亚拉结和两个婢女, 2又吩咐两个婢女和她们的孩子走在前面,利亚和她的孩子跟在后面,拉结约瑟走在最后。 3他自己则走在他们前面,接连俯伏下拜七次,直到他哥哥跟前。

4以扫见到雅各,就跑上去拥抱他,亲吻他,二人抱头痛哭。 5以扫看见跟在雅各后面的妇女和孩子,就问:“这些和你同行的是谁?”雅各说:“这些孩子是上帝施恩赐给你仆人的。” 6雅各的两个婢女和她们的孩子上前下拜, 7利亚也和她的孩子上前下拜,最后约瑟拉结也上前向以扫下拜。

8以扫说:“我在路上遇见的那一群群牲畜是怎么回事?”雅各回答说:“我带来这些是要得到我主的恩待。” 9以扫说:“弟弟,我已经有很多了,你自己留着吧!” 10雅各说:“不,你若赏脸,就请收下!我见了你的面就像见了上帝的面,因为你这样善侍我。 11请你收下我的礼物吧,因为上帝恩待了我,使我富足。”雅各再三恳求,以扫才收下。

12以扫说:“我们走吧!我陪你们走。” 13雅各却说:“我主知道孩子们还小,而且,我还要照料正在哺乳的牛羊,如果整天赶路,牛羊会累死。 14倒不如请我主先走,我迁就牲畜和孩子慢慢走,我在西珥与我主会合。”

15以扫说:“让我给你留几个帮手吧。”雅各说:“不用了,能得到我主的恩待就够了。” 16于是,以扫在当天先回西珥去了, 17雅各却去了疏割,在那里为自己建造房屋,为牲畜搭起棚子。因此那地方叫疏割33:17 疏割”意思是“棚子”。

18这样,雅各巴旦·亚兰平安地回到迦南示剑城,在城外搭营居住。 19他搭营居住的这块地是他用一百块银子向示剑的父亲哈抹的子孙买的。 20雅各在那里筑了一座坛,称之为伊利·伊罗伊·以色列33:20 伊利·伊罗伊·以色列”意思是“以色列的上帝”。