Olubereberye 24 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 24:1-67

Okunoonyeza Isaaka Omukazi

124:1 nny 35Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna. 224:2 a Lub 39:4-6 b nny 9; Lub 47:29Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange24:2 wansi w’ekisambi kyange amakulu nti ekirayiro ekyo kyali kitwaliramu ne bazzukulu ba Ibulayimu. 324:3 a Lub 14:19 b Lub 28:1; Ma 7:3 c Lub 10:15-19ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera, 424:4 Lub 12:1; 28:2wabula ng’oligenda mu nsi yange mu bantu bange n’owasiza mutabani wange Isaaka omukazi.”

5Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?” 6Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. 724:7 a Bag 3:16* b Lub 12:7; 13:15 c Kuv 23:20, 23Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. 8Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.” 924:9 nny 2Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu.

10Awo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli. 1124:11 a Kuv 2:15 b nny 13; 1Sa 9:11Obudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.

1224:12 nny 27, 42, 48; Lub 26:24; Kuv 3:6, 15, 16N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo. 13Laba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi. 1424:14 Bal 6:17, 37Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”

Lebbeeka ku Luzzi

1524:15 a nny 45 b Lub 22:23 c Lub 22:20 d Lub 11:29Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. 1624:16 Lub 26:7Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.

17Awo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”

1824:18 nny 14N’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi.

1924:19 nny 14Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.” 20Bw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna, 2124:21 nny 12omusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.

2224:22 nny 47Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike. 23N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?” 2424:24 nny 15N’amuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.” 25N’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.”

2624:26 nny 48, 52; Kuv 4:31Awo omusajja n’akutamya omutwe gwe n’asinza Mukama. 2724:27 a Kuv 18:10; Lus 4:14; 1Sa 25:32 b nny 49; Lub 32:10; Zab 98:3 c Lub 32:21 d nny 12, 48N’agamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.” 28Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna. 2924:29 nny 4; Lub 29:5, 12, 13Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, 30Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. 3124:31 Lub 26:29; Lus 3:10; Zab 115:15Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”

3224:32 Lub 43:24; Bal 19:21Awo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere. 33Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.”

Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”

Omuddu Annyonnyola Ekyamutwala

34Awo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu. 3524:35 a nny 1 b Lub 13:2Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. 3624:36 a Lub 21:2, 10 b Lub 25:5Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. 3724:37 nny 3Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. 3824:38 nny 4Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’

3924:39 nny 5“Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’

4024:40 nny 7“Ye n’anziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange. 4124:41 nny 8Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’

4224:42 nny 12“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, 4324:43 a nny 13 b nny 14laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” 44n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’

4524:45 a 1Sa 1:13 b nny 15 c nny 17“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’

4624:46 nny 18-19“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’

4724:47 a nny 23 b nny 24 c Ez 16:11-12“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. 4824:48 a nny 26 b nny 27Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange. 4924:49 Lub 47:29; Yos 2:14Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”

Lebbeeka Agenda n’Omuddu

5024:50 a Zab 118:23 b Lub 31:7, 24, 29, 42Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri. 51Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bw’alagidde.”

5224:52 nny 26Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga Mukama. 5324:53 nny 10, 22N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi. 5424:54 nny 56, 59Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.

Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”

55Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”

56Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” 57Ne bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.” 58Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”

5924:59 Lub 35:8Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be. 6024:60 a Lub 17:16 b Lub 22:17Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,

“Mwannyinaffe beera nnyina

w’enkumi n’enkumi,

abaana n’abazzukulu bo balyenga

ebibuga by’abalabe baabwe.”

61Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.

Isaaka ne Lebbeeka Bafumbiriganwa

6224:62 a Lub 16:14; 25:11 b Lub 20:1Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu. 6324:63 Zab 1:2; 77:12; 119:15, 27, 48, 97, 148; 143:5; 145:5Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja. 64Ne Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira, 65n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”

Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.

66Awo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda. 6724:67 a Lub 25:20 b Lub 29:18, 20 c Lub 23:1-2Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.24:67 Waali wayiseewo emyaka esatu nga Saala afudde (17:17; 23:1; 25:20).

New Russian Translation

Бытие 24:1-67

Исаак и Ревекка

1Авраам был уже стар, в преклонных годах, и Господь благословил его во всем. 2Авраам сказал старшему24:2 Или: «старейшему». слуге в своем доме, который распоряжался всем, что у него было:

– Положи руку мне под бедро24:2 Обряд принесения торжественной клятвы (ср. 47:29). 3и поклянись мне Господом, Богом неба и Богом земли, что ты не возьмешь моему сыну жены из дочерей хананеев, среди которых я живу, 4но пойдешь ко мне на родину, к моей родне, и там возьмешь жену для моего сына Исаака.

5Слуга спросил его:

– Что, если та женщина не захочет идти со мной сюда, в эту землю? Что мне тогда делать, возвратить твоего сына в ту страну, откуда ты пришел?

6Авраам ответил:

– Ни в коем случае не возвращай туда моего сына. 7Господь, Бог неба, Который вывел меня из дома отца и из моей родной земли, Который говорил со мной и поклялся мне, сказав: «Я отдам эту землю твоему семени», Он пошлет Своего Ангела перед тобой, чтобы ты смог взять оттуда жену для моего сына. 8Если женщина не захочет идти с тобой, то ты будешь свободен от этой клятвы. Но не возвращай туда моего сына. 9Слуга положил руку под бедро своего господина Авраама и поклялся ему.

10Потом слуга взял десять верблюдов своего господина и, нагрузив их лучшими подарками от него, отправился в путь. Он пошел в Арам-Нахараим24:10 То есть в северо-западную Месопотамию., держа путь к городу, где жил Нахор. 11Он опустил верблюдов на колени у источника за пределами города; это было под вечер, когда женщины приходят за водой.

12Он сказал:

– О Господи, Бог моего господина Авраама! Дай мне сегодня успех и яви милость моему господину Аврааму. 13Вот, я стою у источника, и дочери горожан идут за водой. 14Пусть будет так. Если я скажу девушке: «Пожалуйста, опусти кувшин с плеча, чтобы мне напиться», а она ответит: «Пей, а я напою и твоих верблюдов», то ее Ты и назначил для слуги Твоего Исаака. Так я узнаю, что Ты явил милость моему господину.

15Еще он не кончил молиться, как Ревекка, дочь Бетуила, сына Милки, жены Авраамова брата Нахора, вышла к источнику с кувшином на плече. 16Она была очень красивая девушка, девственница, которая еще не была с мужчиной. Она спустилась к источнику, наполнила кувшин и пошла обратно.

17Слуга поспешил ей навстречу и сказал:

– Пожалуйста, дай мне немного воды из твоего кувшина.

18– Пей, господин мой, – сказала она и, быстро опустив кувшин на руки, дала ему напиться.

19Когда он напился вдоволь, она сказала:

– Я начерпаю воды и для твоих верблюдов, пока они не напьются.

20Она быстро вылила воду из кувшина в поилку, побежала обратно к источнику зачерпнуть еще воды и начерпала для всех его верблюдов. 21Он молча наблюдал за ней, пытаясь понять, даровал ли Господь успех его путешествию.

22Когда верблюды напились, тот человек вынул золотую серьгу для носа, весом в беку24:22 Около 6 гр., и два золотых браслета, весом в десять шекелей24:22 Около 115 гр., 23и спросил:

– Скажи мне, чья ты дочь? Нет ли у твоего отца в доме комнаты, чтобы нам переночевать?

24Она ответила ему:

– Я дочь Бетуила, сына Милки, которого она родила Нахору.

25И добавила:

– У нас вдоволь и соломы, и корма, и есть комната для ночлега.

26Тогда он склонился и восславил Господа, 27сказав:

– Хвала Господу, Богу моего господина Авраама, Который не оставил без Своей милости и верности моего господина, потому что Господь привел меня прямо в дом к родне моего господина.

28Девушка побежала и рассказала обо всем в доме матери. 29У Ревекки был брат по имени Лаван, и он поспешил к тому человеку у источника. 30Как только он увидел серьгу для носа и браслеты на руках у сестры и услышал рассказ Ревекки о том, что сказал ей тот человек, он пошел к нему, а тот так и стоял с верблюдами у источника.

31– Пойдем к нам, благословенный Господом, – сказал Лаван. – Почему ты стоишь здесь снаружи? Я приготовил дом и место для верблюдов.

32Тот человек вошел в дом, и верблюды были расседланы. Верблюдам принесли соломы и корма, а для него и его людей принесли воды, чтобы вымыть ноги. 33Перед ним поставили еду, но он сказал:

– Я не стану есть, пока не расскажу о моем поручении.

– Рассказывай, – ответил Лаван.

34Он сказал:

– Я – слуга Авраама. 35Господь щедро благословил моего господина, и он стал богат. Он дал ему мелкий и крупный скот, серебро и золото, слуг и служанок, верблюдов и ослов. 36Жена моего господина Сарра родила ему сына в старости, и он завещал ему все, что у него есть. 37Мой господин велел мне поклясться и сказал: «Не бери жены для моего сына из дочерей хананеев, в чьей земле я живу, 38но пойди к семье моего отца, к моей родне, и оттуда возьми жену для моего сына». 39Я спросил моего господина: «А что, если та женщина не пойдет со мной?» 40Он ответил: «Господь, перед лицом Которого я хожу, пошлет с тобой Своего Ангела и дарует успех твоему путешествию, чтобы ты взял жену для моего сына из моей родни и из семьи моего отца. 41Только тогда ты будешь свободен от этой клятвы, когда побываешь в доме моего отца, и если они откажут отдать ее тебе, тогда ты будешь свободен от клятвы». 42Когда я сегодня пришел к источнику, я сказал: «О Господи, Бог моего господина Авраама, если бы Ты только даровал успех поручению, с которым я послан! 43Вот я стою у источника: если девушка выйдет начерпать воды, и я скажу ей: „Пожалуйста, дай мне попить воды из твоего кувшина“, 44и если она скажет мне: „Пей, а я начерпаю воды и твоим верблюдам“, то значит, ее-то Господь и назначил для сына моего господина». 45Еще я не закончил молиться в сердце своем, когда вышла Ревекка с кувшином на плече. Она спустилась к источнику и зачерпнула воды, и я сказал ей: «Пожалуйста, дай мне напиться». 46Она быстро спустила кувшин с плеча и сказала: «Пей, а я напою и твоих верблюдов». И я напился воды, а она напоила верблюдов. 47Я спросил ее: «Чья ты дочь?» Она сказала: «Дочь Бетуила, сына Нахора, которого родила ему Милка». Тогда я дал ей серьгу для носа и браслеты на руки 48и склонился и восславил Господа. Я восхвалил Господа, Бога моего господина Авраама, Который верной дорогой привел меня, чтобы взять внучку брата моего господина в жены его сыну. 49Итак, если вы окажете милость и верность моему господину, так и скажите мне, а если нет, тоже скажите мне, чтобы я знал, что мне делать.

50Лаван и Бетуил ответили:

– Это дело от Господа; не нам говорить тебе да или нет. 51Вот Ревекка пред тобой; забирай ее и иди, и пусть она станет женой сына твоего господина, как определил Господь.

52Услышав эти слова, Авраамов слуга склонился перед Господом до земли. 53Потом он вынул наряды, а также золотые и серебряные украшения и подарил их Ревекке; ее брату и матери он также дал дорогие подарки. 54И он, и люди, что были с ним, ели, пили и остались ночевать. Когда на другое утро они поднялись, он сказал:

– Отпустите меня, я хочу отправиться в путь к моему господину.

55Но ее брат и мать ответили:

– Пусть девушка останется с нами еще хотя бы десять дней; потом можешь24:55 Или: «может». идти.

56Но он сказал:

– Не задерживайте меня, раз Господь даровал успех моему поручению. Отпустите меня в путь, чтобы мне вернуться к моему господину.

57Они сказали:

– Позовем девушку и спросим ее.

58Они позвали Ревекку и спросили:

– Пойдешь с этим человеком?

– Пойду, – ответила она.

59И они отправили в путь свою сестру Ревекку вместе с ее кормилицей, слугой Авраама и его людьми. 60Они благословили Ревекку и сказали:

– Сестра наша, да будут потомки твои

исчисляться тысячами тысяч;

да овладеет потомство твое

вратами своих врагов.

61Ревекка и ее служанки собрались, сели на верблюдов и отправились за тем человеком. Так слуга взял Ревекку и отправился в путь.

62Исаак вернулся из Беэр-лахай-рои – он жил в Негеве, – 63и вот, вечером он вышел в поле24:63 Или: «он вышел в поле поразмыслить». Смысл этого еврейского слова неясен., и поднял взгляд и увидел, что идут верблюды. 64Ревекка тоже подняла взгляд и увидела Исаака; она спустилась с верблюда 65и спросила слугу:

– Кто этот человек в поле, что идет нам навстречу?

– Это мой господин, – ответил слуга.

Тогда она взяла покрывало и набросила на себя. 66Слуга рассказал Исааку обо всем, что он сделал. 67Исаак ввел Ревекку в шатер своей матери Сарры и взял ее в жены. Она стала его женой, и он полюбил ее; и так Исаак утешился после смерти матери.