Olubereberye 17 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 17:1-27

Endagaano y’Okukomola

117:1 a Lub 28:3; Kuv 6:3 b Ma 18:13Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa. 217:2 Lub 15:18Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.”

3Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti, 417:4 a Lub 15:18 b nny 16; Lub 12:2; 35:11; 48:19“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi. 517:5 a nny 15; Nek 9:7 b Bar 4:17*Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi. 617:6 a Lub 35:11 b Mat 1:6Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. 717:7 a Kuv 29:45, 46 b Bar 9:8; Bag 3:16Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe. 817:8 a Zab 105:9, 11 b Lub 23:4; 28:4; Kuv 6:4 c Lub 12:7Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”

9Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna. 1017:10 nny 23; Lub 21:4; Yk 7:22; Bik 7:8; Bar 4:11Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga. 1117:11 a Kuv 12:48; Ma 10:16 b Bar 4:11Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe. 1217:12 Lv 12:3; Luk 2:21Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, 13oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo. 1417:14 Kuv 4:24-26Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”

Ekisuubizo eri Salaayi

15Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. 1617:16 a Lub 18:10 b Lub 35:11; Bag 4:31Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”

1717:17 Lub 18:12; 21:6Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” 18Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”

1917:19 a Lub 18:14; 21:2 b Lub 26:3Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. 2017:20 a Lub 16:10 b Lub 25:12-16 c Lub 21:18Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. 2117:21 Lub 21:2Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.” 22Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali.

23Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba. 2417:24 Bar 4:11Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 25Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 26Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa. 27N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.

Священное Писание

Начало 17:1-27

Обряд обрезания – знак священного соглашения

1Когда Ибраму было девяносто девять лет, Вечный явился ему и сказал:

– Я – Бог Всемогущий; ходи передо Мной и будь непорочен. 2Я заключу священное соглашение между Мной и тобой и дам тебе многочисленное потомство.

3Ибрам поклонился до самой земли, и Всевышний сказал ему:

4– Вот Моё священное соглашение с тобой. Ты будешь отцом многих народов. 5Ты больше не будешь называться Ибрамом («превознесённый отец»): твоё имя будет Ибрахим («отец множества»), потому что Я сделал тебя отцом множества народов. 6Я сделаю тебя очень плодовитым; от тебя Я произведу народы, и от тебя произойдут цари. 7Я заключу Моё священное соглашение с тобой и твоими потомками17:7 Букв.: «семенем». в грядущих поколениях как вечное священное соглашение: Я Бог, Которому будешь поклоняться ты и твои потомки. 8Всю землю Ханаана, где ты сейчас пришелец, Я отдам в вечное владение тебе и твоим потомкам; и они будут Мне поклоняться.

9Всевышний сказал Ибрахиму:

– Ты же должен соблюдать Моё священное соглашение, ты и потомки твои после тебя в грядущих поколениях. 10Вот Моё священное соглашение с тобой и твоими потомками после тебя, которое ты должен соблюдать: каждый младенец мужского пола да будет обрезан. 11Каждому должно быть сделано обрезание крайней плоти, и это будет знаком священного соглашения между Мной и вами. 12Каждый ваш младенец мужского пола должен быть обрезан, когда ему исполнится восемь дней: и тот, кто рождён в твоём доме, и тот, кто не из твоего потомства, а куплен за деньги у чужеземца. 13И рождённый в твоём доме, и купленный за деньги должен быть обрезан, и на теле вашем будет знак Моего вечного священного соглашения. 14Необрезанный младенец мужского пола, у которого не была обрезана крайняя плоть, будет исторгнут из своего народа: он нарушил священное соглашение со Мной.

15Ещё Всевышний сказал Ибрахиму:

– Что до Сары, жены твоей, ты больше не будешь называть её Сарой: её имя будет Сарра («княгиня»). 16Я благословлю её и дам тебе сына от неё. Я благословлю её так, что она станет матерью народов; цари народов произойдут от неё.

17Ибрахим поклонился до самой земли и подумал, рассмеявшись: «Родится ли сын у человека, которому сто лет? Родит ли ребёнка Сарра, которой уже девяносто?» 18И он сказал Всевышнему:

– Хотя бы Исмаил был жив и благословлён Тобой!

19Всевышний сказал:

– Именно твоя жена Сарра родит тебе сына, и ты назовёшь его Исхак («он смеётся»). Я заключу Моё священное соглашение с ним как вечное соглашение для его потомков после него. 20Что до Исмаила, то Я услышал тебя: Я непременно благословлю его, Я сделаю его плодовитым и сильно размножу его. Он будет отцом двенадцати правителей, и Я произведу от него великий народ. 21Но Моё священное соглашение Я заключу с Исхаком, которого Сарра родит тебе к этому времени в следующем году.

22Закончив говорить с Ибрахимом, Всевышний поднялся от него. 23В тот же самый день Ибрахим взял своего сына Исмаила и всех, кто был рождён в его доме или куплен за деньги, всех людей мужского пола в доме, и обрезал их, как сказал ему Всевышний. 24Ибрахиму было девяносто девять лет, когда он был обрезан, 25а его сыну Исмаилу было тринадцать; 26Ибрахим и его сын Исмаил оба были обрезаны в тот же день. 27И все мужчины в доме Ибрахима, включая тех, кто был рождён в его доме или куплен у чужеземца, были обрезаны вместе с ним.