Olubereberye 16 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 16:1-16

Ibulaamu ne Agali

116:1 a Lub 11:30; Bag 4:24-25 b Lub 21:9Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; 216:2 Lub 30:3-4, 9-10Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.”

Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.16:2 Obugumba kyatwalibwanga okuba ekibonerezo okuva eri Katonda. Era empisa mu biro ebyo yakkirizanga omukazi omugumba okulondera bba omuwala, bba gw’ayinza okuzaalako abaana. Abaana abo baabanga ba mukazi omugumba. 316:3 Lub 12:5Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. 4Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto.

Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. 516:5 Lub 31:53Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” 6Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.

Agali ne Isimayiri

716:7 a Lub 21:17; 22:11, 15; 31:11 b Lub 20:1Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli. 8N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”

9Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.” 1016:10 Lub 13:16; 17:20Era Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”

1116:11 Kuv 2:24; 3:7, 9Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti,

“Laba, olina omwana mu nda yo,

aliba wabulenzi,

olimutuuma Isimayiri,

kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.

1216:12 Lub 25:18Aliba ng’entulege,

anaalwananga na buli muntu

era na buli muntu anaalwananga naye,

era anaabanga mu bulabe

ne baganda be.”

1316:13 Lub 32:30Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.” 14Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.

1516:15 Bag 4:22Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri. 16Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.