Olubereberye 14 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 14:1-24

Olutalo ne Bakabaka

114:1 Lub 10:10Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali,14:1 Sinaali ye Babulooni ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, 214:2 a Lub 10:19 b Lub 13:10bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali. 314:3 Kbl 34:3, 12; Ma 3:17; Yos 3:16; 15:2, 5Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo). 4Baamala emyaka kkumi n’ebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bamujeemera.

514:5 a Lub 15:20; Ma 2:11, 20 b Ma 2:10Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa14:5 Abaleefa kitegeeza Agantu aganene ennyo. mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu, 614:6 a Ma 2:12, 22 b Ma 2:1, 5, 22 c Lub 21:21; Kbl 10:12n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. 714:7 2By 20:2Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.

814:8 a Lub 13:10; 19:17-29 b Ma 29:23Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu 9okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. 1014:10 Lub 19:17, 30Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. 11Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda. 12Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.

Ibulaamu Awonya Lutti

1314:13 nny 24; Lub 13:18Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu. 1414:14 a Lub 15:3 b Ma 34:1; Bal 18:29Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.

Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa

1714:17 2Sa 18:18Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). 1814:18 a Zab 110:4; Beb 5:6 b Zab 76:2; Beb 7:2Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi14:18 Ssaalemi lye liyinzika okuba nga ly’erinnya ekkadde erya Yerusaalemi. eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 1914:19 a Beb 7:6 b nny 22N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,

“Katonda Ali Waggulu Ennyo

Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.

2014:20 a Lub 24:27 b Lub 28:22; Ma 26:12; Beb 7:4Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe

agabudde abalabe bo mu mikono gyo.”

Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.

21Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”

2214:22 a Kuv 6:8; Dan 12:7; Kub 10:5-6 b nny 19Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, 2314:23 2Bk 5:16sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ 24Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 14:1-24

亚伯兰救回罗得

1-2那时,示拿暗拉非以拉撒亚略以拦基大老玛戈印提达联合攻打以下五王:所多玛比拉蛾摩拉比沙押玛示纳洗扁善以别比拉王,即琐珥王。 3五王会师西订谷,即盐海。 4他们受基大老玛王统治十二年,在第十三年叛变了。 5第十四年,基大老玛联合其他王在亚特律·加宁打败利乏音人,在哈麦打败苏西人,在沙微·基列亭打败以米人, 6西珥山打败住在那里的何利人,直杀到靠近旷野的伊勒·巴兰7然后,他们返回安·密巴,即加低斯,征服了亚玛力全境以及住在哈洗逊·他玛亚摩利人。 8那时,所多玛王、蛾摩拉王、押玛王、洗扁王和比拉王,即琐珥王,在西订谷摆开阵势, 9抵抗以拦基大老玛戈印提达示拿暗拉非以拉撒亚略:四王跟五王交战。 10西订谷有许多柏油坑,所多玛王和蛾摩拉王败走的时候,有些人掉进坑里,其他人都往山上逃命。 11四王把所多玛蛾摩拉所有的财物和粮食洗劫一空, 12并劫走亚伯兰的侄儿罗得和他的财物,那时罗得正住在所多玛

13有一个逃出来的人把这件事情告诉了希伯来亚伯兰。那时,亚伯兰住在亚摩利幔利的橡树那里。幔利以实各亚乃的兄弟,三人都是亚伯兰的盟友。 14亚伯兰听见侄儿被掳的消息,便率领家中三百一十八名训练有素的壮丁去追赶他们,一直追到但。 15夜里,亚伯兰和他的随从分头出击,大败敌人,一直追杀到大马士革北面的何巴, 16夺回所有被劫的财物,并救出他侄儿罗得和他的财物、妇女及其他人。

麦基洗德祝福亚伯兰

17亚伯兰大败基大老玛及其盟军后凯旋归来,所多玛王到沙微谷来迎接他们。沙微谷即王谷。 18撒冷麦基洗德也带着饼和酒出来相迎,他是至高上帝的祭司。 19他祝福亚伯兰说:

“愿创造天地的主、至高的上帝赐福给亚伯兰

20将敌人交在你手中的至高上帝当受称颂!”

于是,亚伯兰把所得的十分之一给麦基洗德21所多玛王对亚伯兰说:“请把我的人民交还给我,你可以把财物拿去。” 22亚伯兰对他说:“我向创造天地的主、至高的上帝耶和华起誓, 23凡是你的东西,就是一根线、一条鞋带,我都不会拿,免得你说,‘我使亚伯兰发了财!’ 24除了我的随从已经吃用的以外,我什么也不要。至于我的盟友亚乃以实各幔利所应得的战利品,请分给他们。”