Olubereberye 12 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 12:1-20

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

112:1 Bik 7:3*; Beb 11:8Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

212:2 a Lub 15:5; 17:2, 4; 18:18; 22:17; Ma 26:5 b Lub 24:1, 35“Nange ndikufuula eggwanga eddene,

era ndikuwa omukisa,

n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,

olyoke obeere mukisa.

312:3 a Lub 27:29; Kuv 23:22; Kbl 24:9 b Lub 18:18; 22:18; 26:4; Bik 3:25; Bag 3:8*Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,

era buli alikukolimira nange namukolimiranga;

era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi

mwe galiweerwa omukisa.”

412:4 Lub 11:31Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. 512:5 Lub 14:14; 17:23Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

612:6 a Beb 11:9 b Lub 35:4; Ma 11:30 c Lub 10:18Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. 712:7 a Lub 17:1; 18:1; Kuv 6:3 b Lub 13:15, 17; 15:18; 17:8; Zab 105:9-11 c Lub 13:4Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

812:8 Lub 13:3Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. 912:9 Lub 13:1, 3Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu12:9 Negevu kitegeeza ensi enkalu, era lwe lusenyi oludda mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemi n’okudda mu ddungu..

Ibulaamu Agenda e Misiri

10Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri12:10 Misiri teyakosebwa kyeya, kubanga baalina enzizi ezaafukiriranga ebirime byabwe. asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. 11Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, 12era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. 1312:13 Lub 20:2; 26:7Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”

14Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. 15N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo. 16Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.

1712:17 1By 16:21Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 1812:18 Lub 20:9; 26:10Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Genesis 12:1-20

Mulungu Ayitana Abramu

1Tsiku lina Yehova anamuwuza Abramu kuti, “Tuluka mʼdziko lako. Siya abale ako ndi banja la abambo ako ndipo pita ku dziko limene ndidzakusonyeza.

2“Ndidzakusandutsa kholo la mtundu waukulu wa anthu

ndipo ndidzakudalitsa;

ndi kukusandutsa wotchuka kotero kuti

udzakhala dalitso kwa anthu ambiri.

3Ndidzadalitsa amene adzadalitsa iwe,

ndi kutemberera amene adzatemberera iwe;

ndipo mafuko onse a pa dziko lapansi

adzadalitsika kudzera mwa iwe.”

4Choncho Abramu ananyamuka monga momwe Yehova anamuwuzira, napita pamodzi ndi Loti. Pamene Abramu amachoka ku Harani nʼkuti ali ndi zaka 75. 5Abramu anatenga mkazi wake Sarai, Loti, mwana wamngʼono wake, pamodzi ndi chuma chawo chimene anapeza ndi antchito amene anali nawo ku Harani. Iwo ananyamuka ulendo mpaka kukafika ku dziko la Kanaani.

6Abramu anadutsa mʼdzikomo mpaka kukafika ku Sekemu pa mtengo wa thundu wa ku More. Nthawi imeneyo Akanaani analipobe mʼdzikomo. 7Yehova anadza kwa Abramu nati, “Kwa zidzukulu zako ndidzapereka dziko limeneli.” Choncho Abramu anamangira Yehova amene anadza kwa iye, guwa lansembe.

8Atachoka pamenepo analowera cha ku mapiri a kummawa kwa Beteli namangako tenti yake pakati pa Beteli chakumadzulo ndi Ai chakummawa. Kumeneko anamangira Yehova guwa lansembe napemphera mʼdzina la Yehovayo. 9Kenaka Abramu ananyamuka kumalowera cha ku Negevi.

Abramu ku Igupto

10Kunagwa njala yayikulu mʼdzikomo, ndipo Abramu anapita ku Igupto kukakhala ngati mlendo kwa kanthawi kochepa popeza njalayo inakula kwambiri. 11Atatsala pangʼono kulowa mu Igupto, Abramu anamuwuza mkazi wake Sarai kuti, “Ndimadziwa kuti ndiwe mkazi wokongola kwambiri. 12Tsono Aigupto akakuona adzanena kuti ‘Ameneyu ndi mkazi wake.’ Tsono adzandipha ine nakusiya iwe ndi moyo. 13Tsono udzikawawuza kuti iwe ndiwe mlongo wanga. Ukatero zidzandiyendera bwino ndipo ndidzapulumuka chifukwa cha iwe.”

14Pamene Abramu anafika ku Igupto, Aigupto aja anaona kuti Sarai anali mkazi wokongoladi. 15Pamene akuluakulu a ku nyumba ya Farao anamuona, anakamuyamikira pamaso pa Farao ndipo ananka naye ku nyumba ya Farao. 16Abramu naye zinthu zinkamuyendera bwino chifukwa cha Sarai. Farao anamupatsa nkhosa, ngʼombe, abulu aamuna ndi abulu aakazi, antchito aakazi pamodzi ndi ngamira.

17Koma Yehova anabweretsa matenda owopsa pa Farao pamodzi ndi banja lake lonse chifukwa cha Sarai mkazi wa Abramu. 18Choncho Farao anayitanitsa Abramu namufunsa kuti, “Nʼchiyani wandichitirachi? Nʼchifukwa chiyani sunandiwuze kuti ameneyu ndi mkazi wako? 19Nʼchifukwa chiyani unati ndi mlongo wako, mpaka ine ndinamutenga kukhala mkazi wanga? Eko mkazi wako. Mutenge uzipita!” 20Farao analamula asilikali ake ndipo iwo anamutulutsa Abramu pamodzi ndi mkazi wake ndi zonse anali nazo.