Okuva 40 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 40:1-38

Okusimba Eweema ya Mukama

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 240:2 a Kbl 1:1 b nny 17; Kuv 12:2“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 340:3 nny 21; Kbl 4:5; Kuv 26:33Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi. 440:4 a Kuv 25:30 b nny 22-25; Kuv 26:35Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza. 540:5 nny 26; Kuv 30:1Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.

6“Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, 740:7 nny 30; Kuv 30:18olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi. 8Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, n’ossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.

940:9 Kuv 30:26; Lv 8:10“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu. 1040:10 Kuv 29:36Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.

1240:12 Lv 8:1-13“Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’obanaaza n’amazzi, 1340:13 a Kuv 28:41 b Lv 8:12n’oyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu n’omusiigako amafuta n’omwawula, alyoke ampeereze nga kabona. 14Olireeta ne batabani be n’obambaza ekkanzu ey’obwakabona, 1540:15 Kuv 29:9; Kbl 25:13n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.” 16Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.

1740:17 a Kbl 7:1 b nny 2Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa. 18Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo; 19n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.

2040:20 Kuv 16:34; 25:16; Ma 10:5; 1Bk 8:9; Beb 9:4N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; 2140:21 Kuv 26:33n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.

2240:22 Kuv 26:35N’ayingiza emmeeza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi, 2340:23 nny 4n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. 2440:24 Kuv 26:35N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza, 2540:25 nny 4; Kuv 25:37n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

2640:26 nny 5; Kuv 30:6N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi, 2740:27 Kuv 30:7n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 2840:28 Kuv 26:36N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.

2940:29 nny 6; Kuv 29:38-42N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa. 3040:30 nny 7N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba; 31Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 3240:32 Kuv 30:20Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.

3340:33 a Kuv 27:9 b nny 8N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.

Ekitiibwa kya Mukama

3440:34 Kbl 9:15-23; 1Bk 8:12Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama. 3540:35 1Bk 8:11; 2By 5:13-14Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.

3640:36 Kbl 9:17-23; 10:13; Nek 9:19Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 3840:38 Kuv 13:21; Kbl 9:15; 1Ko 10:1Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.