Okuva 27 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 27:1-21

Ekyoto

127:1 Ez 43:13“Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 227:2 Zab 118:27Era ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo. 3Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo. 4Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo. 5Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka. 6Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo. 7Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa. 827:8 Kuv 25:9, 40Ekyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi.

Oluggya

9“Eweema ya Mukama gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa, 10n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.

12“Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.

16“Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo. 19Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.

Amafuta g’Ettaala

20“Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira. 2127:21 a Kuv 28:43 b Kuv 26:31, 33 c Kuv 25:37; 30:8; 1Sa 3:3; 2By 13:11 d Kuv 29:9; Lv 3:17; 16:34; Kbl 18:23; 19:21Mu kisenge kya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 27:1-21

造燔祭坛的条例

1“要用皂荚木造一个四方形的祭坛,长宽各二点三米,高一点三米。 2要在坛的四角造四个角状物,与坛连成一体,坛外面要包上铜。 3用铜造盛坛灰的盆和其他祭坛用具,即铲、碗、肉叉、火鼎。 4要造一个铜网,在铜网的四角装置四个铜环。 5铜网在祭坛围边的下方,向下伸展到祭坛的腰部。 6要用皂荚木为祭坛造两根横杠,外面包上铜。 7要将两根横杠穿在祭坛两旁的铜环里,以便抬祭坛。 8整座坛都用木板制成,坛是中空的。一切都要照我在山上给你的指示去做。

圣幕院子的规划

9“要为圣幕围出一个院子。院子的南面要用细麻线做帷幔,长四十六米, 10帷幔有二十根柱子,二十个带凹槽的铜底座,柱子上的钩子和横杆都是银的。 11北面的帷幔也是长四十六米,柱子、铜底座、钩子、横杆的样式都与南面的一样。 12院子西面的帷幔宽二十三米,有十根柱子和十个带凹槽的底座。 13院子东面的帷幔也是宽二十三米。 14-15入口两边的帷幔都是宽六点九米,各有三根柱子和三个带凹槽的底座。 16院子的入口要有门帘,长九米,用细麻线和蓝色、紫色、朱红色的线织成,上面有精致的刺绣,还有四根柱子和四个带凹槽的底座。 17所有绕着院子的柱子都要用银制的横杆连接,所有的钩子都要用银制作,带凹槽的底座要用铜制作。 18整个院子长四十四米,宽二十二米,高二点三米,所有的帷幔都要用细麻线精工制作,带凹槽的底座要用铜制作。 19圣幕里其他一切器具以及圣幕、院子所用的橛子都要用铜制作。

20“你要吩咐以色列百姓,把榨出的纯橄榄油拿来做会幕内的灯油,使灯台上的灯经常亮着。 21亚伦和他的子孙要负责照看圣所内约柜前的幔子外的灯,使灯在耶和华面前日夜亮着。这是以色列百姓世世代代当守的条例。